WEBVTT 00:00:05.013 --> 00:00:09.004 (Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University) Mu ssomo lino tugenda kwogera ku nnawookeera w'endwadde. 00:00:09.004 --> 00:00:12.069 Nnawookeera w'endwadde kyo kye kyi? 00:00:12.069 --> 00:00:19.067 Nnawookeera kye kirwadde ekisasaana mu ngeri esukkuluma ku dwadde ezabulijjo 00:00:19.067 --> 00:00:24.098 mu bantu ob'omukitundu ekimu, mu kibinja ekimu, mu kiseera 00:00:24.098 --> 00:00:27.079 ekigere. 00:00:27.079 --> 00:00:35.026 Ekigambo ekirala ekyekuusa ku nnawookeera ye kawumpuli ekitegeeza endwadde esimba amakanda 00:00:35.026 --> 00:00:40.037 mu kitundu ekimu oba mu bantu ab'ekikula ekimu. 00:00:40.037 --> 00:00:46.094 Ekikulu bwe bungi bw'abantu abakwatibwa edwadde mu kiseera ekigere. 00:00:46.094 --> 00:00:54.011 Kawumpuli kyo kitegeeza nnawookeera asasaana mu kiseera kye kimu mu bitundu ebyenjawulo. 00:00:54.011 --> 00:00:59.023 ekwetoloola ensi. 00:00:59.023 --> 00:01:04.096 Eky'okulabirako, mu nsi yaffe tulaba nga nnawookeera kye kizibu kye tusinga okuba nakyo mu by'obulamu 00:01:04.096 --> 00:01:08.065 mu disitrikiti zonna okwetoloola Africa ey'ebuvanjuba 00:01:08.065 --> 00:01:15.077 Mu Uganda yokka eky'okulabirako, waabalukawo nnawookeera w'endwadde mukaaga mu myezi munaana, mu mwaka 2007. 00:01:15.077 --> 00:01:23.009 Muno nno nga mwe muli: KKolera, omussujja ogwa mulalama, omusujja gw'omukibumba, kawumpuli ava ku mmese, Ebola era n'obulwadde obwefanyirizaako Ebola obuyitibwa Marburg. 00:01:23.009 --> 00:01:31.929 Oyinza okumenya yo nnawokeera w'endwadde ttaano ezakabalukawo mu biseera ebitali byewala mu disiturikiti yo? 00:01:31.929 --> 00:01:39.119 Endwadde ezo zitera okwekuusa ku kiddukano ekyengeri ez'enjawulo gamba nga ekiddukano eky'amazzi, Kkolera, 00:01:39.119 --> 00:01:41.719 ekiddukano eky'omusaayi, ne tayifoyidi. 00:01:41.719 --> 00:01:46.999 Era endwadde ezo waggulu zitera okubalukawo mu disituriti nyingi mu Afica ey'ebuvanjuba. 00:01:46.999 --> 00:01:51.609 Okubalukawo kw'endadde ezigemebwa gamba nga olunkusense, 00:01:51.609 --> 00:01:56.017 nakwo kukyali kw'amanyi kubanga abantu tebajjumbira nnyo kugemesa baana.babwe. 00:01:56.017 --> 00:02:03.017 Omusujja gw'ensiri gumaamidde ebitundu bingi mu Africa ey'ebuvanjuba naddala ebyo ebiri mu bikko; wabula 00:02:03.017 --> 00:02:08.075 ne mu bitundu ebiri waggulu ko nayo omusujja guno olumu gulumba yo. 00:02:08.075 --> 00:02:14.096 Mu bitundu bino, omussujja gw'ensiri gufuuka kawumpuli ssinga gukwata abantu abangi ennyo okusukkuluma omuwendo gw'abo 00:02:14.096 --> 00:02:20.064 abandisubiddwa okukwatibwa mu kiseera ekimu. 00:02:20.064 --> 00:02:26.003 Endwadde endala ezisobola kufuuka kawumpuli mulimu ezo ezikwatira mukwegatta gamba nga mukenenya, 00:02:26.003 --> 00:02:36.047 kabotongo, n'enziku era n'ezo ez'engeri endala nga kawumpuli ava ku mmese, endwadde z'olususu n'ezo eziva kubutwa obuva mu biragalalagala 00:02:36.047 --> 00:02:43.047 gamba nga omwenge ogusogoddwa mu ngeri ey'ekimpatiira, kino nno nga kifuuse kimu ku bizibu by'eby'obulamu mu 00:02:43.047 --> 00:02:45.036 Africa ey'ebuvanjuba. 00:02:45.036 --> 00:02:50.006 Ka tunokoleyo eky'okulabirako ekisooka. 00:02:50.006 --> 00:02:57.053 Soma ekiwandiiko ekiri ku katambi akakuwereddwa 00:02:57.053 --> 00:03:03.028 Ekibuuzo: Ekyo kyosomyeko kiyinza okubaawo mu disiturikiti yo? Era nga kibaddewo, 00:03:03.028 --> 00:03:08.000 abakulembeze ba disiturikiti bategeera batya nti waliwo nnawookeera? 00:03:08.000 --> 00:03:14.067 Okumanya nnawookeera tulina kubagulizibwako. 00:03:14.067 --> 00:03:20.029 Tufuna amawulire agakwata ku nnawoookeera okuva mu bantu abawansi era 00:03:20.029 --> 00:03:23.099 n'okuva ku alipoota ez'abalwadde abagenda mu malwaliro, oba ezo eziva mu bakulembeze abasookerwako. 00:03:23.099 --> 00:03:32.051 Nolwekyo tulina okubeera n'enteekateeka mwetuyinza okuyita okumanya amangu, eri ddala wansi mu bantu. 00:03:32.051 --> 00:03:40.004 Etteeka ekkulu mu kumanya nnawookeera lili nti buli lugambo lwonna lulina okunoonyerezebwako. 00:03:40.004 --> 00:03:46.007 Ngatunoonyereza ku nnawookeera tulina okufuna okunnyonnyolwa ebikwata ku bulwadde 00:03:46.007 --> 00:03:52.035 naddala okuva ku basawo ababa babujjanjaba. Olwo nno n'abantu ne balyoka batuusibwako amawulire gano 00:03:52.035 --> 00:03:53.084 agakwata ku bulwadde nga bwe buba bulabise. 00:03:53.084 --> 00:04:01.078 Ekyokubiri ekikakasa nti ddala nnawookeera, walina okubaawo okulinnya mu muwendo gw'abo abakwatibwa okussukkuluma 00:04:01.078 --> 00:04:05.096 ku kisuubirwa. 00:04:05.096 --> 00:04:13.009 Bikkula ekiwandiiko ekikuwereddwa kubbali era olabe okunnyonnyola okwenjawulo 00:04:13.009 --> 00:04:16.039 okukolebwa ku ndwadde ezimanyiddwa ba kagezi munnyo 00:04:16.039 --> 00:04:26.079 gamba nga poliyo, olunkusense, kolera,ebola ne 00:04:26.079 --> 00:04:28.075 mulalama. 00:04:28.075 --> 00:04:34.019 Engeri obulwadde gye bu nnyonnyolwamu oba gye butuumibwamu eyinza okukyuuka okusinziira ku kitundu mwebuli oba obubonero 00:04:34.019 --> 00:04:39.097 mwe bweyolekera nga nnawookera abaluseewo. 00:04:39.097 --> 00:04:46.097 Ekitongole kwa disiturikiti ekiddukirize (District Rapid Reaction Team) kisobola okugunja wo erinnya oba enyinyonnyola y'obulwadde singa waba tewali nyinyonnyola nkukuutivu, 00:04:46.097 --> 00:04:53.072 nga basinziira ku ngeri gye bweyolekamu era n'obuzibu obuva ku 00:04:53.072 --> 00:04:56.002 mbeera eyo mwe bweyolekera. 00:04:56.002 --> 00:05:00.001 Ggwe oyinza okugezaako okuwa enyinnyonnyola yo ku ndwadde zino wammanga? 00:05:00.001 --> 00:05:05.046 Edwadde eva ku kunywa omwenge ebaluseewo era n'etta abantu mu kitundu ekimu (X) 00:05:05.046 --> 00:05:16.063 2. Ekiddukano Ky'omusaayi kibaluseewo mu kibinja Y 3. Edwadde eva ku mmere ebaluseewo 00:05:16.063 --> 00:05:21.013 era n'evaako abantu okufa mu kyalo Z 00:05:21.013 --> 00:05:27.002 Edwadde eziyinza okuvaamu nnawookeera zisobola okubeera mu kitundu ekimu naye nga tezinnafuuka nnawookeera. 00:05:27.002 --> 00:05:33.007 Eky'okulabirako gwe musujja gw'ensiri, ogumaamidde ebitundu binji mu Africa ey'ebuvanjuba. 00:05:33.007 --> 00:05:39.081 Okulangirira nnawookeera omuwendo gw'abo abakwatibwa gulina okuba nga gulinnye nnyo okuyita ku ekyo ekisuubirwa. 00:05:39.081 --> 00:05:44.006 mu kiseera ekigere. 00:05:44.006 --> 00:05:50.002 Wabula endawadde ezimu ezivaako nnawookeera teziba zabulijjo mu bitundu mwe zizinda. 00:05:50.002 --> 00:05:54.048 Era ku ndwadde nga ezo, omuntu omu olukwatibwa tugamba nti wabaluseewo nnawokeera 00:05:54.048 --> 00:05:58.038 Eky'okulabirako, kye kirwadde nga Kolera. 00:05:58.038 --> 00:06:01.009 Edwadde ezimu ezivaako nnawookeera tezitera kulabika wabulwa nga za kabenje nnyo bwe zirabika. 00:06:01.009 --> 00:06:06.083 Mu mbeera eyo tetusobola kulinda kumaliriza kunoonyereza ku mulwadde oyo aba alabise 00:06:06.083 --> 00:06:10.059 Wabula kasita tuteeberereza ku oyo nga tulangirira nnawookeera. 00:06:10.059 --> 00:06:13.081 Eky'okulabirako bwe bulwadde bwa Ebola. 00:06:13.081 --> 00:06:18.061 Nolwekyo engeri gye tupimamu amanyi ga nnawookeera esinziira ku ndwadde yennyini. 00:06:18.061 --> 00:06:21.062 Okugeza Ku Kolera, bwe tukakasayo omulwadde omu bwati 00:06:21.062 --> 00:06:24.019 ate ku Ebola kuteeberezayo omulwadde omu bwati olwo netulyoka tulangirira nnawookeera. 00:06:24.019 --> 00:06:31.009 Okulangirila nnawookeera w'Olunkusense tusinziira ku balwadde abateeberezebwa batanu n'okugenda waggulu, oba basatu abakakasiddwa 00:06:31.009 --> 00:06:37.021 mu kitundu ekyetolodde edwaaliro erimu, mu mwezi gumu. 00:06:37.021 --> 00:06:44.021 Wabula ate ku musujja gw'ensiri, olw'okuba gumaamidde ebitundu bingi mu Africa ey'ebuvanjuba, nnawookeera alangirirwa 00:06:44.021 --> 00:06:53.038 nga omuwendo gw'abo abakwatibwa gusukkulumye nnyo ku ogwo ogusuubirwa, mu kiseera ekigere. 00:06:53.038 --> 00:07:04.056 Katutunuulire eky'okulabirako eky'okubiri ekiri mu kiwandiiko ekiri ku katambi. 00:07:04.056 --> 00:07:11.056 Kale katwekennenye eky'okulabirako kino nga bwetukubaganya ebirowooozo ku bibuzo bino: 00:07:11.056 --> 00:07:17.026 Olowooza disituritiki era n'ekitongole eky'eby'obulamu bagezaako okunoonyereza 00:07:17.026 --> 00:07:19.079 ku bikwata ku nnawookeera ono? 00:07:19.079 --> 00:07:25.005 Bwe tugamba nti 'obudduukirize obw'embagirawo' tuba tutegeezakyi? 00:07:25.005 --> 00:07:37.699 EMITENDERA MU KUNONYEREZA KU NNAWOOKEERA 1- Okuddukirira okusooka era n'okukakasa nnawookeera. 00:07:37.699 --> 00:07:45.037 Kikulu nnyo okuyungula ekibinja era n'okukola enteekateeka ey'okulambula ekitundu ekyo ekurumbiddwa mu bwangu nga bwe kisoboka. 00:07:45.037 --> 00:07:51.075 Eky'okubiri: Kikulu okubagawo erinnya oba engeri enyangu obulwadde obwo gye buyinza okunnyonnyolwamu, olwo nno netulyooka tukakasa abalwadde abo ababa balabise. 00:07:51.075 --> 00:07:54.083 Eky'okusatu: Kisaana okubagawo engeri ennungamu ey'okuzuula mu abalwadde b'obulwadde obwo. 00:07:54.083 --> 00:08:01.003 Eky'okuna: Kakasa nti waliwo nnawookeera nga ogerageranya okweyongera kw'owuwendo gw' abakwatibwa nabo abakwatibwa edda. 00:08:01.003 --> 00:08:07.084 Oky'okutaano: nyonnyola ani akwatiddwa? Ddi era wa? 00:08:07.084 --> 00:08:14.084 Omutendera ogw'okubiri: 00:08:14.084 --> 00:08:22.016 Gunja wo akabinja aka disiturikiti ak'avunanyizibwa ku nnawookeera ono era ogabanye bulungi obuvunanyizibwa. 00:08:22.016 --> 00:08:30.015 Weeyambise erinnya oba ebigambo ebinnyonnyola byewagunjizzaawo okuzuula abakwatiddwa era otekewo ekifo awajjanjabirwa obulwadde buno. 00:08:30.015 --> 00:08:34.579 Omutendera ogw'okusatu: gunjawo enkola eziyinza okuziyiza obulwadde buno okusaasaana. 00:08:34.579 --> 00:08:38.081 Jjanjaba abakwatiddwa osobole okukendeeza ku kusaasaana era n'okufa. 00:08:38.081 --> 00:08:45.022 Lowooza nnyo ku kugema, okuyonja ebifo omuli obuwuka era n'ebyambalo ebiyinza okukendeeza ku kusaasaana. 00:08:45.022 --> 00:08:48.056 Somesa abo bonna abalina emikisa emingi egy'okukwatibwa obulwadde obwo. 00:08:48.056 --> 00:08:53.077 Wegendereze nga oyogera ku bulwadde obwo okwewala okutiisa ennyo abantu wabula oyambe mu kuziyiza okusaasaana. 00:08:53.077 --> 00:08:57.061 Omutendera ogw'okuna: Kola kubwetaavu bwonna obuyinza okubaawo mu bakozi oba mu bikozesebwa. 00:08:57.061 --> 00:09:02.014 Eddagala, ebikozesebwa mu kujjanjaba era ne byonna ebiyamba okutumbula obujjanjabi. 00:09:02.014 --> 00:09:07.062 Noonya abajjanjabi n'ebikozesebwa okuva ebweru w'ekitongole eky'eby'obulamu 00:09:07.062 --> 00:09:12.017 gamba nga ebitongole eby'obwannakyewa singa ebikozesebwa biba tebimala. 00:09:12.017 --> 00:09:19.085 Omutendera ogw'okutaano: Noonyereza biki ebivuddeko nnawookeera ono era okole alipoota. 00:09:19.085 --> 00:09:24.013 Weekennenye ebimanyiddwa ku dwadde eno osobole okuzuula ebyo ebiyinza okuteeka abantu mu katyabaga k'okukwatibwa. 00:09:24.013 --> 00:09:29.062 Kola alipoota era fuba okulaba nti amawulire agalimu gatuuka ku buli bantu abeetaaga okugafuna era n'abo ab'etaaga 00:09:29.062 --> 00:09:30.069 okubaako kye bakola okuziyiza okusaasaana kw'endwadde eyo. 00:09:30.069 --> 00:09:48.029 Mu alipoota muno olina okubaako ebirowoozo byowa ku kyiki ekiyinza okukolebwa amangu ddala mu kukkakkanya nnawookeera ono. 00:09:48.029 --> 00:09:42.008 Omutendera ogw'omukaaga: Beera bulindaala 00:09:42.008 --> 00:09:49.019 Yongera amanyi mu kulabiriza ebubonero obuyinza okulaga abakwatiddwa era oyigire okwo 00:09:49.019 --> 00:09:52.069 engeri y'okudduukirira mu nnawookeera mu biseera eby'omumaaso. 00:09:52.069 --> 00:09:58.076 Tekawo enkola eziziyiza nnawookeera ow'ekikula nga ekyo mu biseera eby'omumaaso. 00:09:58.076 --> 00:09:59.580 Mwebale nnyo okuwuliriza.