(Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University) Mu ssomo lino tugenda kwogera ku nnawookeera w'endwadde. Nnawookeera w'endwadde kyo kye kyi? Nnawookeera kye kirwadde ekisasaana mu ngeri esukkuluma ku dwadde ezabulijjo mu bantu ob'omukitundu ekimu, mu kibinja ekimu, mu kiseera ekigere. Ekigambo ekirala ekyekuusa ku nnawookeera ye kawumpuli ekitegeeza endwadde esimba amakanda mu kitundu ekimu oba mu bantu ab'ekikula ekimu. Ekikulu bwe bungi bw'abantu abakwatibwa edwadde mu kiseera ekigere. Kawumpuli kyo kitegeeza nnawookeera asasaana mu kiseera kye kimu mu bitundu ebyenjawulo. ekwetoloola ensi. Eky'okulabirako, mu nsi yaffe tulaba nga nnawookeera kye kizibu kye tusinga okuba nakyo mu by'obulamu mu disitrikiti zonna okwetoloola Africa ey'ebuvanjuba Mu Uganda yokka eky'okulabirako, waabalukawo nnawookeera w'endwadde mukaaga mu myezi munaana, mu mwaka 2007. Muno nno nga mwe muli: KKolera, omussujja ogwa mulalama, omusujja gw'omukibumba, kawumpuli ava ku mmese, Ebola era n'obulwadde obwefanyirizaako Ebola obuyitibwa Marburg. Oyinza okumenya yo nnawokeera w'endwadde ttaano ezakabalukawo mu biseera ebitali byewala mu disiturikiti yo? Endwadde ezo zitera okwekuusa ku kiddukano ekyengeri ez'enjawulo gamba nga ekiddukano eky'amazzi, Kkolera, ekiddukano eky'omusaayi, ne tayifoyidi. Era endwadde ezo waggulu zitera okubalukawo mu disituriti nyingi mu Afica ey'ebuvanjuba. Okubalukawo kw'endadde ezigemebwa gamba nga olunkusense, nakwo kukyali kw'amanyi kubanga abantu tebajjumbira nnyo kugemesa baana.babwe. Omusujja gw'ensiri gumaamidde ebitundu bingi mu Africa ey'ebuvanjuba naddala ebyo ebiri mu bikko; wabula ne mu bitundu ebiri waggulu ko nayo omusujja guno olumu gulumba yo. Mu bitundu bino, omussujja gw'ensiri gufuuka kawumpuli ssinga gukwata abantu abangi ennyo okusukkuluma omuwendo gw'abo abandisubiddwa okukwatibwa mu kiseera ekimu. Endwadde endala ezisobola kufuuka kawumpuli mulimu ezo ezikwatira mukwegatta gamba nga mukenenya, kabotongo, n'enziku era n'ezo ez'engeri endala nga kawumpuli ava ku mmese, endwadde z'olususu n'ezo eziva kubutwa obuva mu biragalalagala gamba nga omwenge ogusogoddwa mu ngeri ey'ekimpatiira, kino nno nga kifuuse kimu ku bizibu by'eby'obulamu mu Africa ey'ebuvanjuba. Ka tunokoleyo eky'okulabirako ekisooka. Soma ekiwandiiko ekiri ku katambi akakuwereddwa Ekibuuzo: Ekyo kyosomyeko kiyinza okubaawo mu disiturikiti yo? Era nga kibaddewo, abakulembeze ba disiturikiti bategeera batya nti waliwo nnawookeera? Okumanya nnawookeera tulina kubagulizibwako. Tufuna amawulire agakwata ku nnawoookeera okuva mu bantu abawansi era n'okuva ku alipoota ez'abalwadde abagenda mu malwaliro, oba ezo eziva mu bakulembeze abasookerwako. Nolwekyo tulina okubeera n'enteekateeka mwetuyinza okuyita okumanya amangu, eri ddala wansi mu bantu. Etteeka ekkulu mu kumanya nnawookeera lili nti buli lugambo lwonna lulina okunoonyerezebwako. Ngatunoonyereza ku nnawookeera tulina okufuna okunnyonnyolwa ebikwata ku bulwadde naddala okuva ku basawo ababa babujjanjaba. Olwo nno n'abantu ne balyoka batuusibwako amawulire gano agakwata ku bulwadde nga bwe buba bulabise. Ekyokubiri ekikakasa nti ddala nnawookeera, walina okubaawo okulinnya mu muwendo gw'abo abakwatibwa okussukkuluma ku kisuubirwa. Bikkula ekiwandiiko ekikuwereddwa kubbali era olabe okunnyonnyola okwenjawulo okukolebwa ku ndwadde ezimanyiddwa ba kagezi munnyo gamba nga poliyo, olunkusense, kolera,ebola ne mulalama. Engeri obulwadde gye bu nnyonnyolwamu oba gye butuumibwamu eyinza okukyuuka okusinziira ku kitundu mwebuli oba obubonero mwe bweyolekera nga nnawookera abaluseewo. Ekitongole kwa disiturikiti ekiddukirize (District Rapid Reaction Team) kisobola okugunja wo erinnya oba enyinyonnyola y'obulwadde singa waba tewali nyinyonnyola nkukuutivu, nga basinziira ku ngeri gye bweyolekamu era n'obuzibu obuva ku mbeera eyo mwe bweyolekera. Ggwe oyinza okugezaako okuwa enyinnyonnyola yo ku ndwadde zino wammanga? Edwadde eva ku kunywa omwenge ebaluseewo era n'etta abantu mu kitundu ekimu (X) 2. Ekiddukano Ky'omusaayi kibaluseewo mu kibinja Y 3. Edwadde eva ku mmere ebaluseewo era n'evaako abantu okufa mu kyalo Z Edwadde eziyinza okuvaamu nnawookeera zisobola okubeera mu kitundu ekimu naye nga tezinnafuuka nnawookeera. Eky'okulabirako gwe musujja gw'ensiri, ogumaamidde ebitundu binji mu Africa ey'ebuvanjuba. Okulangirira nnawookeera omuwendo gw'abo abakwatibwa gulina okuba nga gulinnye nnyo okuyita ku ekyo ekisuubirwa. mu kiseera ekigere. Wabula endawadde ezimu ezivaako nnawookeera teziba zabulijjo mu bitundu mwe zizinda. Era ku ndwadde nga ezo, omuntu omu olukwatibwa tugamba nti wabaluseewo nnawokeera Eky'okulabirako, kye kirwadde nga Kolera. Edwadde ezimu ezivaako nnawookeera tezitera kulabika wabulwa nga za kabenje nnyo bwe zirabika. Mu mbeera eyo tetusobola kulinda kumaliriza kunoonyereza ku mulwadde oyo aba alabise Wabula kasita tuteeberereza ku oyo nga tulangirira nnawookeera. Eky'okulabirako bwe bulwadde bwa Ebola. Nolwekyo engeri gye tupimamu amanyi ga nnawookeera esinziira ku ndwadde yennyini. Okugeza Ku Kolera, bwe tukakasayo omulwadde omu bwati ate ku Ebola kuteeberezayo omulwadde omu bwati olwo netulyoka tulangirira nnawookeera. Okulangirila nnawookeera w'Olunkusense tusinziira ku balwadde abateeberezebwa batanu n'okugenda waggulu, oba basatu abakakasiddwa mu kitundu ekyetolodde edwaaliro erimu, mu mwezi gumu. Wabula ate ku musujja gw'ensiri, olw'okuba gumaamidde ebitundu bingi mu Africa ey'ebuvanjuba, nnawookeera alangirirwa nga omuwendo gw'abo abakwatibwa gusukkulumye nnyo ku ogwo ogusuubirwa, mu kiseera ekigere. Katutunuulire eky'okulabirako eky'okubiri ekiri mu kiwandiiko ekiri ku katambi. Kale katwekennenye eky'okulabirako kino nga bwetukubaganya ebirowooozo ku bibuzo bino: Olowooza disituritiki era n'ekitongole eky'eby'obulamu bagezaako okunoonyereza ku bikwata ku nnawookeera ono? Bwe tugamba nti 'obudduukirize obw'embagirawo' tuba tutegeezakyi? EMITENDERA MU KUNONYEREZA KU NNAWOOKEERA 1- Okuddukirira okusooka era n'okukakasa nnawookeera. Kikulu nnyo okuyungula ekibinja era n'okukola enteekateeka ey'okulambula ekitundu ekyo ekurumbiddwa mu bwangu nga bwe kisoboka. Eky'okubiri: Kikulu okubagawo erinnya oba engeri enyangu obulwadde obwo gye buyinza okunnyonnyolwamu, olwo nno netulyooka tukakasa abalwadde abo ababa balabise. Eky'okusatu: Kisaana okubagawo engeri ennungamu ey'okuzuula mu abalwadde b'obulwadde obwo. Eky'okuna: Kakasa nti waliwo nnawookeera nga ogerageranya okweyongera kw'owuwendo gw' abakwatibwa nabo abakwatibwa edda. Oky'okutaano: nyonnyola ani akwatiddwa? Ddi era wa? Omutendera ogw'okubiri: Gunja wo akabinja aka disiturikiti ak'avunanyizibwa ku nnawookeera ono era ogabanye bulungi obuvunanyizibwa. Weeyambise erinnya oba ebigambo ebinnyonnyola byewagunjizzaawo okuzuula abakwatiddwa era otekewo ekifo awajjanjabirwa obulwadde buno. Omutendera ogw'okusatu: gunjawo enkola eziyinza okuziyiza obulwadde buno okusaasaana. Jjanjaba abakwatiddwa osobole okukendeeza ku kusaasaana era n'okufa. Lowooza nnyo ku kugema, okuyonja ebifo omuli obuwuka era n'ebyambalo ebiyinza okukendeeza ku kusaasaana. Somesa abo bonna abalina emikisa emingi egy'okukwatibwa obulwadde obwo. Wegendereze nga oyogera ku bulwadde obwo okwewala okutiisa ennyo abantu wabula oyambe mu kuziyiza okusaasaana. Omutendera ogw'okuna: Kola kubwetaavu bwonna obuyinza okubaawo mu bakozi oba mu bikozesebwa. Eddagala, ebikozesebwa mu kujjanjaba era ne byonna ebiyamba okutumbula obujjanjabi. Noonya abajjanjabi n'ebikozesebwa okuva ebweru w'ekitongole eky'eby'obulamu gamba nga ebitongole eby'obwannakyewa singa ebikozesebwa biba tebimala. Omutendera ogw'okutaano: Noonyereza biki ebivuddeko nnawookeera ono era okole alipoota. Weekennenye ebimanyiddwa ku dwadde eno osobole okuzuula ebyo ebiyinza okuteeka abantu mu katyabaga k'okukwatibwa. Kola alipoota era fuba okulaba nti amawulire agalimu gatuuka ku buli bantu abeetaaga okugafuna era n'abo ab'etaaga okubaako kye bakola okuziyiza okusaasaana kw'endwadde eyo. Mu alipoota muno olina okubaako ebirowoozo byowa ku kyiki ekiyinza okukolebwa amangu ddala mu kukkakkanya nnawookeera ono. Omutendera ogw'omukaaga: Beera bulindaala Yongera amanyi mu kulabiriza ebubonero obuyinza okulaga abakwatiddwa era oyigire okwo engeri y'okudduukirira mu nnawookeera mu biseera eby'omumaaso. Tekawo enkola eziziyiza nnawookeera ow'ekikula nga ekyo mu biseera eby'omumaaso. Mwebale nnyo okuwuliriza.