WEBVTT 00:00:06.399 --> 00:00:13.000 (Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University) Lino lye ssomo erisooka mu kitundu kyaffe ekisooka mu misomo gino. 00:00:13.000 --> 00:00:19.079 Essomo lino lituwa enyanjula ku bibamba.ebigwa tebiraze 00:00:19.079 --> 00:00:28.079 Tugenda kukubaganya ebirowoozo ku nyingo enkulu, amakulu n'ebyo ebikwata ku bibamba ebigwa tebiraze 00:00:29.140 --> 00:00:33.350 era n'ebigambo ebitera okukozesebwa nga twogera ku bibamba ebigwa tebiraze 00:00:33.350 --> 00:00:40.350 Era tugenda kwogera ku bika oba engeri eziri mu bibamba bino era n'engeri embeera z'eby'obulamu gye zikosebwamu. 00:00:40.549 --> 00:00:43.000 ebibamba bino, 00:00:43.000 --> 00:00:48.290 Ekigambo "ekibamba" kikutegeeza kyi? 00:00:48.290 --> 00:00:55.290 Ekibamba kiyinza okunnyonnyolwa nga ekintu ekigwaawo nekitataaganyiza ddala era n'okutabulatabula enkola n'embeera y'obulamu mu bantu ab'omukitundu ekimu. 00:00:55.290 --> 00:01:04.260 oba ebitundu ebiwereko, ekiretera abantu okufiirwa obulamu n'ebintu byabwe era n'ekitundu mwebabeera okutataagana, mungeri esukka 00:01:04.260 --> 00:01:10.540 obusobozi bw'abantu bano n'ebintu bye balina, okwejja mu buzibu. 00:01:10.540 --> 00:01:17.940 Ekikulu mu mbeera eno kwe kuba nti obuzibu buba busukkira ddala nnyo obusobozi bw'abantu ababa bakoseddwa 00:01:17.940 --> 00:01:22.530 era okuyita mu mbeera eno baba beetaga obuyambi obwamanyi. 00:01:22.530 --> 00:01:27.960 Ago nno ge makulu g'ekigambo kibamba agaawebwa ekitongole ky'ensi yonna , ekikola ku by'obulamu, World Health Organization. 00:01:27.960 --> 00:01:29.610 Kati tugenda okunnyonnyola ebigambo ebirala 00:01:29.610 --> 00:01:31.080 Akattu kye kyi? 00:01:31.080 --> 00:01:37.550 Eno yembeera etwetaagisa okulekayo engeri eza bulijjo ze tukolamu ebintu era ne tubangawo enkola ezitali zabulijjo 00:01:37.550 --> 00:01:42.040 okusobola okwewala akabi akava mu kibamba. 00:01:42.040 --> 00:01:47.380 Wabula emirundi mingi ebigambo bino: 'akatttu' ne 'ekibamba' bikozesebwa okutegeeza ekintu kye kimu. 00:01:47.380 --> 00:01:56.060 Naye tulina okummanya kino nti: akattu ye mbeera etwetaagisa okukyuusa mu ngeri gye tubadde tukola mu ebintu 00:01:56.060 --> 00:02:04.770 nga tugunjawo engeri eyenjawulo egendererwamu okuziyiza 00:02:04.770 --> 00:02:08.628 ekibambulira. 00:02:08.628 --> 00:02:13.000 Katulabe ku bigambo ebiri mu kkowe lino. 00:02:13.000 --> 00:02:18.019 Ekikuuno, akatyabaga, obusobe, n'obusobozi. 00:02:18.019 --> 00:02:20.150 Ekikuuno kye kyi? 00:02:20.150 --> 00:02:24.659 Ekikuuno kye kintu ekibi, eky'entiisa ekiyinza okuzaala obizibu obungi eri abantu 00:02:24.659 --> 00:02:31.659 Ekyo nno kiba tekinnaleeta buzibu naye nga kilina obosobozi okuvaamu ekibamba. 00:02:31.659 --> 00:02:34.349 Akatyabaga kye kyi? 00:02:34.349 --> 00:02:40.049 Eyo ye mbeera eyinza okuvaako okufiirwa obulamu, ebintu oba okutaataaganyizibwa mu by'emirimu n'eby'enfuna 00:02:40.049 --> 00:02:44.109 n'obutonde bw'ensi, nga bireteddwa ekikuuno ekigwa mu kitundu ekimu mu kiseera ekimu. 00:02:44.109 --> 00:02:54.870 Akatyabaga kye kigambo ekikozesebwa mu mbeera elimu emikisa emingi egy'okukosebwa okuva ku kikuuno. 00:02:54.870 --> 00:02:58.010 Olwo obusobe kye kyi? 00:02:58.010 --> 00:03:04.400 Wano obusobe kitegeeza embeera omuntu mwaberera omwangu ennyo okukosebwa mu birowoozo era ne mu mubiri gwe 00:03:04.400 --> 00:03:05.529 Oluvannyuma lw'ekibamba. 00:03:05.529 --> 00:03:13.540 Bwe tukigaziya tuyinza okugamba nti bwe bungi bw'emikisa eri ekitundu, abantu, n'ebintu 00:03:13.540 --> 00:03:20.540 okukosebwa olw'embeera eva mu kikuuno. 00:03:22.239 --> 00:03:23.450 Obusobozi kye kyi? 00:03:23.450 --> 00:03:35.480 Mumbeera eno kino kitegeeza okubaawo kw'abantu, ebikozesebwa era n'ebikola byonna 00:03:35.480 --> 00:03:43.480 ebiyinza okusobozesa abantu b'omukitundu ekimu okwanganga ekikuuno nga tekinnatuuka oba okwanganga ebizibu bye kiba kireseewo. 00:03:44.999 --> 00:03:48.099 Olwo nno kakwate kyi akali wakati w'ebigambo bino? 00:03:48.099 --> 00:03:58.340 Ekibamba n'akatyabaga: Akatyabaga mu mbeera y'ekibamba kasobola okunnyonnyolwa nga tweyambisa ekibalo kino wammanga. 00:03:58.340 --> 00:04:05.340 Akatyabaga kenkanankana n'ekikuuno nga okikubaganyizzaamu obusobe ate n'oyawulako obusobozi. 00:04:05.340 --> 00:04:08.189 Ebibamba bisobola okujja olw'obutonde, 00:04:08.189 --> 00:04:13.529 naye ate bisobola okuva ku nkola eya tekinologiya oba ebyo ebikolebwa omuntu. 00:04:13.529 --> 00:04:19.329 Waliwo ebibamba ebitagwa mu kimu ku bika ebyogeddwaako waggulu, nga ebyo tubiyita bya maleeto. 00:04:19.329 --> 00:04:24.420 Engeri endala gyetuyinza okwawula mu bibamba esinziira ku misinde kwe bitambulira. 00:04:24.420 --> 00:04:30.789 Ebibamba ebimu bitambula ku misinde gya yiriyiri ate nga ebirala byo bitambula kasoobo. 00:04:30.789 --> 00:04:39.780 Mu ebyo ebitambula akasoobo tulinamu ekyeya, eddungu,enjala, okutema ebibira 00:04:39.780 --> 00:04:42.780 mpozzi n'obuwuka oba endwadde ezikwata ebimera. 00:04:43.879 --> 00:04:51.379 Ebibamba ebya yiriyiri bitwariramu ebyo ebiva ku mbeera y'obudde gamba nga amataba, embuyaga ya zzimu, 00:04:51.379 --> 00:05:00.810 omuliro ogwa kyegyira, omuzira oguggwa era n'ebyo ebiva ku nkula y'ensi gamba nga sunami oba ensozi okuwandula omuliro 00:05:00.810 --> 00:05:03.990 n'okubumbulukuka kw'ettaka. 00:05:03.990 --> 00:05:06.080 Ebibamba ebiva ku tekinologiya bitera kuletebwa 00:05:06.080 --> 00:05:16.340 bikolwa bya bantu bennyini oba omukka oguva mu bintu abantu bye bakozesa. 00:05:16.340 --> 00:05:22.180 Muno mwetusanga obukuubagano n'entalo ebireeta abantu okubundabundira mu nsi yabwe oba ebweru w'egwanga. 00:05:22.180 --> 00:05:25.830 Bino tutera kubiyita kika kya mbeera ya kattu. 00:05:25.830 --> 00:05:32.830 Ebibamba bya tekinologiya era bitwaliramu ebizimbe n'amayumba okugwa, 00:05:32.830 --> 00:05:40.220 ebibamba ebibaawo mu by'entambula, obubenje bw'oku mazzi n'obw'okulukalu era n'obubenje obulala bwonna. 00:05:40.220 --> 00:05:48.060 gamba nga omukka ogw'obutwa oguva mu ddagala oba mu makolero. 00:05:49.610 --> 00:05:56.060 mu bibamba bya tekinologiya era mulimu obubenje bw'eby'okwerinda, omuliro,ebibamba ebiva ku butujju, 00:05:56.060 --> 00:06:01.860 n'obubenje by'omu makolero 00:06:01.860 --> 00:06:03.680 Ebibamba ebya maleeto. 00:06:03.680 --> 00:06:09.759 Mu mbeera ezimu kiba kizibu okwawula mu bibamba bino naddala okugamba nti bivudde ku butonde 00:06:09.759 --> 00:06:10.879 oba bivudde ku tekinologiya. 00:06:10.879 --> 00:06:16.560 Eky'okulabirako, endwadde eza kawumpuli zigwa mu tuluba kyi? 00:06:16.560 --> 00:06:20.810 Kakano katutunuulire engeri ebibamba gye bikosaamu eby'obulamu. 00:06:20.810 --> 00:06:27.810 Ebibamba bivaako ebizibu bingi nga omwo mwe muli abantu okufa n'okulumizibwa, okubulwa amazzi amayonjo, okufiirwa 00:06:27.960 --> 00:06:34.960 okufiirwa webegeka oluba, okufiirwa ebintu byabwe, okubundabunda, okufiira enteekaterka ez'eby'obuyonjo, 00:06:34.960 --> 00:06:41.849 nga enteekateeka ez'okuyonja okwa buli lunaku, okutataaganya entambuza ya kazambi oba enkola ez'ebyokwerinda mu ngeri ez'enjawulo, 00:06:41.849 --> 00:06:48.849 nga bireeta okutya, olwo obuwuka obuleeta obulwadde ne bweyongera era 00:06:49.090 --> 00:06:59.780 negujabagira nga endwadde ez'olukonvuba nazo zinyinyintira, oluusi n'amasanyalaze nga gavuddeko, emmere nga ya kkekwa 00:06:59.780 --> 00:07:04.479 ate n'amazzi nago nga gaanjadde. 00:07:04.479 --> 00:07:11.479 Kino kye kifannanyi ky'embeera nga wabaddewo ekyeeya n'enjala. 00:07:12.689 --> 00:07:19.689 Kino kye kifananyi ky'ebyo ebibaawo nga waliwo amataba agomujjirano. 00:07:19.870 --> 00:07:26.340 Kuno kunnyonnyola ku ebyo ebibaawo mu mbeera ey'amataba agajja empolampola. 00:07:26.340 --> 00:07:32.400 Kuno kunnyonnyola ku bikyi ebiva mu mbeera ey'ettaka okubumbulukuka. 00:07:32.400 --> 00:07:37.629 Enkola eya Hyogo Framework for Disaster Management y'enteekateeka ey'ensi yonna esimbye essira ku 00:07:37.629 --> 00:07:45.969 bino wammanga ku mitendera gyonna: okugunjawo enkola eyitibwaamu okuwa okulabula okusooka 00:07:45.969 --> 00:07:52.969 okutumbula obusobozi era n'okussa essira ku nkola yonna etumbula obusobozi, okussa essira ku kwerinda n'okutumbula amanyi okulwanyisa embeera nga ezo waggulu 00:07:53.259 --> 00:08:01.219 mu bantu b'owansi, okukendeeza ebyo ebibateeka mu katyabaga, n'okwongera amanyi mu bweteefuteefu mu kwanganga ebibamba ku buli 00:08:01.219 --> 00:08:04.129 mutendera. 00:08:04.129 --> 00:08:11.129 Ebimu ku bigambo ebikwata ku mbeera ekulembera ebibamba mulimu obweteefuteefu, ekitegeeza enteekateeka eyamba abantu 00:08:11.189 --> 00:08:17.810 okumanya kyikyi eky'okukola nga ekibamba kigudde. 00:08:17.810 --> 00:08:23.800 Okugema ekitegeeza ebikolwa ebireeta obukuumi obwenkomeredde ku bibamba 00:08:23.800 --> 00:08:30.800 ebitwaliramu okukozesa ebyuma wamu n'ebintu ebirala ebikwatibwako, era n'okussaawo amateeka agakugira 00:08:30.889 --> 00:08:34.270 enkozesa y'ettaka era n'enteekateeka y'ebibuga. 00:08:34.270 --> 00:08:41.270 Waliwo okwetangira ekitegeeza enteekateeka ezikolebwa nga ekintu tekinnabaaawo nga zigendererwamu okukendeeza 00:08:41.890 --> 00:08:48.650 oba okukugira akabi kekiyinza okutuuusa ku bantu ne ku butonde bw'ensi. 00:08:48.650 --> 00:08:52.470 Ebyo ebikolebwa nga ekibamba kimaze okugwawo mulimu okudduukirira. 00:08:52.470 --> 00:08:59.470 Kuno kwekusalawo era n'ebyo ebitekebwa mu nkola oluvannyuma lw'ekibamba okugwa, nga mulimu obuyambi obw'embagirawo, 00:08:59.470 --> 00:09:05.620 okuddaabiriza era n'okuzimba ebyo ebiba byonooneddwa. 00:09:05.620 --> 00:09:07.820 Okuzza obuggya kye kimu ku ebyo ebikolebwa oluvannyuma lw'ekibamba. 00:09:07.820 --> 00:09:14.820 Kino kitegeeza ebintu ebikolebwa okuzzaawo ebikola era n'enkola eziwanirila obulamu olwo emirimu gisobole okugenda mu maaso 00:09:15.090 --> 00:09:24.890 era n'okusobozesa enteekateeka zonna ez'okuzza embeera mu nteeko mu kiseera ekiddirira ekibamba. 00:09:25.530 --> 00:09:30.340 Ebigambo ebirala: Obuyambi era n'obuddukirize 00:09:30.340 --> 00:09:35.260 Bino bibeerawo mu kaseera nga ekibamba kyakagwaawo. 00:09:35.260 --> 00:09:42.000 Enteekateeka ez'enjawulo zikolebwa okuwonya obulamu era n'okubudaabuda abo abawonyewo ssaako n'okusisinkana 00:09:42.000 --> 00:09:43.560 ebyetaago byabwe ebisookerwako. 00:09:43.560 --> 00:09:48.480 Waliwo enjawulo wakati w'ebigambo: obuyambi n'obuddukirize 00:09:48.480 --> 00:09:58.780 Obuddukirize bugendererwa kuwonya bulamu sso nga ate obuyambi bugendererwa kuwanirira bulamu. 00:09:59.330 --> 00:10:07.860 Okubudaabuda kwo kukolebwa nga obuyambi 00:10:07.860 --> 00:10:09.330 bulekeddawo okugabibwa, 00:10:09.330 --> 00:10:16.330 era nga obuyambi obw'ebyetaago ebisokerwako tebukyetaagisa, 00:10:16.740 --> 00:10:20.320 era nga abantu betengeredde mu kusisinkana obwetaavu obw'ebyo ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo. 00:10:20.320 --> 00:10:27.310 Okubudaabuda kulimu okuzza obuggya endowooza z'abantu era n'embeera zabwe ez'obulamu, wamu n'okutembenkeza embeera yonna mu kitundu. 00:10:27.310 --> 00:10:33.860 Era kulimu okugunjawo enkola ennungamu ez'okuwanirira obulamu n'okuyamba ba kawonawo okugenda mumaaso. 00:10:33.860 --> 00:10:39.510 Enkola eno era esaana okuleeta enkulakulana mukitundu. 00:10:39.510 --> 00:10:46.910 Ekimu ku by'okulabirako by'okubudaabuda y'enkola ey'okuzzaawo ebibira, 00:10:46.910 --> 00:10:49.550 era n'enteekateeka ezikolebwa oluvannyuma lw'okuddabulula. 00:10:49.550 --> 00:10:56.550 Ekinyusi kiri mu kuzza embeera mu nteeko nga bweyali nga ekibamba kekinagwa. 00:10:58.830 --> 00:11:05.830 Mu kuddabulula mulimu okuddabiriza ebizimbe, enguudo, n'ebiringa ebyo, okusitula omutindo gw'ebintu okuva ku bwebyali nga ekibamba kekinagwa 00:11:06.430 --> 00:11:13.000 okutumbula amanyi g'abantu b'omukitundu okwanganga ebibamba, gamba nga okutekawo ebizimbe ebyamanyi ebisobola okugumira 00:11:13.000 --> 00:11:16.560 ebibamba ebifananako nga ekyo mu biseera eby'omumaaso. 00:11:16.560 --> 00:11:25.560 Enkola eno yonna yandibadde erina engeri gy'esitula omutindo okuva ku kuwa obuwi obudduukirize n'obuyambi,wabula nga esemberera okukendeeza ku mikisa gy'ebibamba okugwa. 00:11:26.200 --> 00:11:33.200 Kino kya kusomooza gyoli: Nkola kyi zotaddewo okuziyiza ebibamba mu 00:11:33.200 --> 00:11:35.130 disiturikiti yo? 00:11:35.130 --> 00:11:39.220 Nkola kyi zotaddewo okuziyiza embeera y'obusobe ku bibamba mu disiturikiti yo? 00:11:39.220 --> 00:11:43.880 Era nkola kyi zotaddewo okweteekerateekera ebibamba ssinga biguddewo mu disiturikiti yo? 00:11:43.880 --> 00:11:46.410 Manya kino nti ebibamba byonna birina kukwatibwa bukulembeze bwawansi okusooka. 00:11:46.410 --> 00:11:50.710 Era ebibamba byonna bikosa ekitundutundu ku bantu b'omu kifo ekimu. 00:11:50.710 --> 00:11:56.290 Nolwekyo okudduukirira okusooka bulijjo kuva mu kitundu ekyo mwennyini. 00:11:56.290 --> 00:12:03.290 Eno y'ensonga lwaki obusobozi bw'abantu mu kifo okwanganga ebibamba bulina okutumbulwa. 00:12:03.750 --> 00:12:06.040 Mwebale kuwuliriza.