(Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University) Lino lye ssomo erisooka mu kitundu kyaffe ekisooka mu misomo gino. Essomo lino lituwa enyanjula ku bibamba.ebigwa tebiraze Tugenda kukubaganya ebirowoozo ku nyingo enkulu, amakulu n'ebyo ebikwata ku bibamba ebigwa tebiraze era n'ebigambo ebitera okukozesebwa nga twogera ku bibamba ebigwa tebiraze Era tugenda kwogera ku bika oba engeri eziri mu bibamba bino era n'engeri embeera z'eby'obulamu gye zikosebwamu. ebibamba bino, Ekigambo "ekibamba" kikutegeeza kyi? Ekibamba kiyinza okunnyonnyolwa nga ekintu ekigwaawo nekitataaganyiza ddala era n'okutabulatabula enkola n'embeera y'obulamu mu bantu ab'omukitundu ekimu. oba ebitundu ebiwereko, ekiretera abantu okufiirwa obulamu n'ebintu byabwe era n'ekitundu mwebabeera okutataagana, mungeri esukka obusobozi bw'abantu bano n'ebintu bye balina, okwejja mu buzibu. Ekikulu mu mbeera eno kwe kuba nti obuzibu buba busukkira ddala nnyo obusobozi bw'abantu ababa bakoseddwa era okuyita mu mbeera eno baba beetaga obuyambi obwamanyi. Ago nno ge makulu g'ekigambo kibamba agaawebwa ekitongole ky'ensi yonna , ekikola ku by'obulamu, World Health Organization. Kati tugenda okunnyonnyola ebigambo ebirala Akattu kye kyi? Eno yembeera etwetaagisa okulekayo engeri eza bulijjo ze tukolamu ebintu era ne tubangawo enkola ezitali zabulijjo okusobola okwewala akabi akava mu kibamba. Wabula emirundi mingi ebigambo bino: 'akatttu' ne 'ekibamba' bikozesebwa okutegeeza ekintu kye kimu. Naye tulina okummanya kino nti: akattu ye mbeera etwetaagisa okukyuusa mu ngeri gye tubadde tukola mu ebintu nga tugunjawo engeri eyenjawulo egendererwamu okuziyiza ekibambulira. Katulabe ku bigambo ebiri mu kkowe lino. Ekikuuno, akatyabaga, obusobe, n'obusobozi. Ekikuuno kye kyi? Ekikuuno kye kintu ekibi, eky'entiisa ekiyinza okuzaala obizibu obungi eri abantu Ekyo nno kiba tekinnaleeta buzibu naye nga kilina obosobozi okuvaamu ekibamba. Akatyabaga kye kyi? Eyo ye mbeera eyinza okuvaako okufiirwa obulamu, ebintu oba okutaataaganyizibwa mu by'emirimu n'eby'enfuna n'obutonde bw'ensi, nga bireteddwa ekikuuno ekigwa mu kitundu ekimu mu kiseera ekimu. Akatyabaga kye kigambo ekikozesebwa mu mbeera elimu emikisa emingi egy'okukosebwa okuva ku kikuuno. Olwo obusobe kye kyi? Wano obusobe kitegeeza embeera omuntu mwaberera omwangu ennyo okukosebwa mu birowoozo era ne mu mubiri gwe Oluvannyuma lw'ekibamba. Bwe tukigaziya tuyinza okugamba nti bwe bungi bw'emikisa eri ekitundu, abantu, n'ebintu okukosebwa olw'embeera eva mu kikuuno. Obusobozi kye kyi? Mumbeera eno kino kitegeeza okubaawo kw'abantu, ebikozesebwa era n'ebikola byonna ebiyinza okusobozesa abantu b'omukitundu ekimu okwanganga ekikuuno nga tekinnatuuka oba okwanganga ebizibu bye kiba kireseewo. Olwo nno kakwate kyi akali wakati w'ebigambo bino? Ekibamba n'akatyabaga: Akatyabaga mu mbeera y'ekibamba kasobola okunnyonnyolwa nga tweyambisa ekibalo kino wammanga. Akatyabaga kenkanankana n'ekikuuno nga okikubaganyizzaamu obusobe ate n'oyawulako obusobozi. Ebibamba bisobola okujja olw'obutonde, naye ate bisobola okuva ku nkola eya tekinologiya oba ebyo ebikolebwa omuntu. Waliwo ebibamba ebitagwa mu kimu ku bika ebyogeddwaako waggulu, nga ebyo tubiyita bya maleeto. Engeri endala gyetuyinza okwawula mu bibamba esinziira ku misinde kwe bitambulira. Ebibamba ebimu bitambula ku misinde gya yiriyiri ate nga ebirala byo bitambula kasoobo. Mu ebyo ebitambula akasoobo tulinamu ekyeya, eddungu,enjala, okutema ebibira mpozzi n'obuwuka oba endwadde ezikwata ebimera. Ebibamba ebya yiriyiri bitwariramu ebyo ebiva ku mbeera y'obudde gamba nga amataba, embuyaga ya zzimu, omuliro ogwa kyegyira, omuzira oguggwa era n'ebyo ebiva ku nkula y'ensi gamba nga sunami oba ensozi okuwandula omuliro n'okubumbulukuka kw'ettaka. Ebibamba ebiva ku tekinologiya bitera kuletebwa bikolwa bya bantu bennyini oba omukka oguva mu bintu abantu bye bakozesa. Muno mwetusanga obukuubagano n'entalo ebireeta abantu okubundabundira mu nsi yabwe oba ebweru w'egwanga. Bino tutera kubiyita kika kya mbeera ya kattu. Ebibamba bya tekinologiya era bitwaliramu ebizimbe n'amayumba okugwa, ebibamba ebibaawo mu by'entambula, obubenje bw'oku mazzi n'obw'okulukalu era n'obubenje obulala bwonna. gamba nga omukka ogw'obutwa oguva mu ddagala oba mu makolero. mu bibamba bya tekinologiya era mulimu obubenje bw'eby'okwerinda, omuliro,ebibamba ebiva ku butujju, n'obubenje by'omu makolero Ebibamba ebya maleeto. Mu mbeera ezimu kiba kizibu okwawula mu bibamba bino naddala okugamba nti bivudde ku butonde oba bivudde ku tekinologiya. Eky'okulabirako, endwadde eza kawumpuli zigwa mu tuluba kyi? Kakano katutunuulire engeri ebibamba gye bikosaamu eby'obulamu. Ebibamba bivaako ebizibu bingi nga omwo mwe muli abantu okufa n'okulumizibwa, okubulwa amazzi amayonjo, okufiirwa okufiirwa webegeka oluba, okufiirwa ebintu byabwe, okubundabunda, okufiira enteekaterka ez'eby'obuyonjo, nga enteekateeka ez'okuyonja okwa buli lunaku, okutataaganya entambuza ya kazambi oba enkola ez'ebyokwerinda mu ngeri ez'enjawulo, nga bireeta okutya, olwo obuwuka obuleeta obulwadde ne bweyongera era negujabagira nga endwadde ez'olukonvuba nazo zinyinyintira, oluusi n'amasanyalaze nga gavuddeko, emmere nga ya kkekwa ate n'amazzi nago nga gaanjadde. Kino kye kifannanyi ky'embeera nga wabaddewo ekyeeya n'enjala. Kino kye kifananyi ky'ebyo ebibaawo nga waliwo amataba agomujjirano. Kuno kunnyonnyola ku ebyo ebibaawo mu mbeera ey'amataba agajja empolampola. Kuno kunnyonnyola ku bikyi ebiva mu mbeera ey'ettaka okubumbulukuka. Enkola eya Hyogo Framework for Disaster Management y'enteekateeka ey'ensi yonna esimbye essira ku bino wammanga ku mitendera gyonna: okugunjawo enkola eyitibwaamu okuwa okulabula okusooka okutumbula obusobozi era n'okussa essira ku nkola yonna etumbula obusobozi, okussa essira ku kwerinda n'okutumbula amanyi okulwanyisa embeera nga ezo waggulu mu bantu b'owansi, okukendeeza ebyo ebibateeka mu katyabaga, n'okwongera amanyi mu bweteefuteefu mu kwanganga ebibamba ku buli mutendera. Ebimu ku bigambo ebikwata ku mbeera ekulembera ebibamba mulimu obweteefuteefu, ekitegeeza enteekateeka eyamba abantu okumanya kyikyi eky'okukola nga ekibamba kigudde. Okugema ekitegeeza ebikolwa ebireeta obukuumi obwenkomeredde ku bibamba ebitwaliramu okukozesa ebyuma wamu n'ebintu ebirala ebikwatibwako, era n'okussaawo amateeka agakugira enkozesa y'ettaka era n'enteekateeka y'ebibuga. Waliwo okwetangira ekitegeeza enteekateeka ezikolebwa nga ekintu tekinnabaaawo nga zigendererwamu okukendeeza oba okukugira akabi kekiyinza okutuuusa ku bantu ne ku butonde bw'ensi. Ebyo ebikolebwa nga ekibamba kimaze okugwawo mulimu okudduukirira. Kuno kwekusalawo era n'ebyo ebitekebwa mu nkola oluvannyuma lw'ekibamba okugwa, nga mulimu obuyambi obw'embagirawo, okuddaabiriza era n'okuzimba ebyo ebiba byonooneddwa. Okuzza obuggya kye kimu ku ebyo ebikolebwa oluvannyuma lw'ekibamba. Kino kitegeeza ebintu ebikolebwa okuzzaawo ebikola era n'enkola eziwanirila obulamu olwo emirimu gisobole okugenda mu maaso era n'okusobozesa enteekateeka zonna ez'okuzza embeera mu nteeko mu kiseera ekiddirira ekibamba. Ebigambo ebirala: Obuyambi era n'obuddukirize Bino bibeerawo mu kaseera nga ekibamba kyakagwaawo. Enteekateeka ez'enjawulo zikolebwa okuwonya obulamu era n'okubudaabuda abo abawonyewo ssaako n'okusisinkana ebyetaago byabwe ebisookerwako. Waliwo enjawulo wakati w'ebigambo: obuyambi n'obuddukirize Obuddukirize bugendererwa kuwonya bulamu sso nga ate obuyambi bugendererwa kuwanirira bulamu. Okubudaabuda kwo kukolebwa nga obuyambi bulekeddawo okugabibwa, era nga obuyambi obw'ebyetaago ebisokerwako tebukyetaagisa, era nga abantu betengeredde mu kusisinkana obwetaavu obw'ebyo ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo. Okubudaabuda kulimu okuzza obuggya endowooza z'abantu era n'embeera zabwe ez'obulamu, wamu n'okutembenkeza embeera yonna mu kitundu. Era kulimu okugunjawo enkola ennungamu ez'okuwanirira obulamu n'okuyamba ba kawonawo okugenda mumaaso. Enkola eno era esaana okuleeta enkulakulana mukitundu. Ekimu ku by'okulabirako by'okubudaabuda y'enkola ey'okuzzaawo ebibira, era n'enteekateeka ezikolebwa oluvannyuma lw'okuddabulula. Ekinyusi kiri mu kuzza embeera mu nteeko nga bweyali nga ekibamba kekinagwa. Mu kuddabulula mulimu okuddabiriza ebizimbe, enguudo, n'ebiringa ebyo, okusitula omutindo gw'ebintu okuva ku bwebyali nga ekibamba kekinagwa okutumbula amanyi g'abantu b'omukitundu okwanganga ebibamba, gamba nga okutekawo ebizimbe ebyamanyi ebisobola okugumira ebibamba ebifananako nga ekyo mu biseera eby'omumaaso. Enkola eno yonna yandibadde erina engeri gy'esitula omutindo okuva ku kuwa obuwi obudduukirize n'obuyambi,wabula nga esemberera okukendeeza ku mikisa gy'ebibamba okugwa. Kino kya kusomooza gyoli: Nkola kyi zotaddewo okuziyiza ebibamba mu disiturikiti yo? Nkola kyi zotaddewo okuziyiza embeera y'obusobe ku bibamba mu disiturikiti yo? Era nkola kyi zotaddewo okweteekerateekera ebibamba ssinga biguddewo mu disiturikiti yo? Manya kino nti ebibamba byonna birina kukwatibwa bukulembeze bwawansi okusooka. Era ebibamba byonna bikosa ekitundutundu ku bantu b'omu kifo ekimu. Nolwekyo okudduukirira okusooka bulijjo kuva mu kitundu ekyo mwennyini. Eno y'ensonga lwaki obusobozi bw'abantu mu kifo okwanganga ebibamba bulina okutumbulwa. Mwebale kuwuliriza.