1 00:00:06,399 --> 00:00:13,000 (Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University) Lino lye ssomo erisooka mu kitundu kyaffe ekisooka mu misomo gino. 2 00:00:13,000 --> 00:00:19,079 Essomo lino lituwa enyanjula ku bibamba.ebigwa tebiraze 3 00:00:19,079 --> 00:00:28,079 Tugenda kukubaganya ebirowoozo ku nyingo enkulu, amakulu n'ebyo ebikwata ku bibamba ebigwa tebiraze 4 00:00:29,140 --> 00:00:33,350 era n'ebigambo ebitera okukozesebwa nga twogera ku bibamba ebigwa tebiraze 5 00:00:33,350 --> 00:00:40,350 Era tugenda kwogera ku bika oba engeri eziri mu bibamba bino era n'engeri embeera z'eby'obulamu gye zikosebwamu. 6 00:00:40,549 --> 00:00:43,000 ebibamba bino, 7 00:00:43,000 --> 00:00:48,290 Ekigambo "ekibamba" kikutegeeza kyi? 8 00:00:48,290 --> 00:00:55,290 Ekibamba kiyinza okunnyonnyolwa nga ekintu ekigwaawo nekitataaganyiza ddala era n'okutabulatabula enkola n'embeera y'obulamu mu bantu ab'omukitundu ekimu. 9 00:00:55,290 --> 00:01:04,260 oba ebitundu ebiwereko, ekiretera abantu okufiirwa obulamu n'ebintu byabwe era n'ekitundu mwebabeera okutataagana, mungeri esukka 10 00:01:04,260 --> 00:01:10,540 obusobozi bw'abantu bano n'ebintu bye balina, okwejja mu buzibu. 11 00:01:10,540 --> 00:01:17,940 Ekikulu mu mbeera eno kwe kuba nti obuzibu buba busukkira ddala nnyo obusobozi bw'abantu ababa bakoseddwa 12 00:01:17,940 --> 00:01:22,530 era okuyita mu mbeera eno baba beetaga obuyambi obwamanyi. 13 00:01:22,530 --> 00:01:27,960 Ago nno ge makulu g'ekigambo kibamba agaawebwa ekitongole ky'ensi yonna , ekikola ku by'obulamu, World Health Organization. 14 00:01:27,960 --> 00:01:29,610 Kati tugenda okunnyonnyola ebigambo ebirala 15 00:01:29,610 --> 00:01:31,080 Akattu kye kyi? 16 00:01:31,080 --> 00:01:37,550 Eno yembeera etwetaagisa okulekayo engeri eza bulijjo ze tukolamu ebintu era ne tubangawo enkola ezitali zabulijjo 17 00:01:37,550 --> 00:01:42,040 okusobola okwewala akabi akava mu kibamba. 18 00:01:42,040 --> 00:01:47,380 Wabula emirundi mingi ebigambo bino: 'akatttu' ne 'ekibamba' bikozesebwa okutegeeza ekintu kye kimu. 19 00:01:47,380 --> 00:01:56,060 Naye tulina okummanya kino nti: akattu ye mbeera etwetaagisa okukyuusa mu ngeri gye tubadde tukola mu ebintu 20 00:01:56,060 --> 00:02:04,770 nga tugunjawo engeri eyenjawulo egendererwamu okuziyiza 21 00:02:04,770 --> 00:02:08,628 ekibambulira. 22 00:02:08,628 --> 00:02:13,000 Katulabe ku bigambo ebiri mu kkowe lino. 23 00:02:13,000 --> 00:02:18,019 Ekikuuno, akatyabaga, obusobe, n'obusobozi. 24 00:02:18,019 --> 00:02:20,150 Ekikuuno kye kyi? 25 00:02:20,150 --> 00:02:24,659 Ekikuuno kye kintu ekibi, eky'entiisa ekiyinza okuzaala obizibu obungi eri abantu 26 00:02:24,659 --> 00:02:31,659 Ekyo nno kiba tekinnaleeta buzibu naye nga kilina obosobozi okuvaamu ekibamba. 27 00:02:31,659 --> 00:02:34,349 Akatyabaga kye kyi? 28 00:02:34,349 --> 00:02:40,049 Eyo ye mbeera eyinza okuvaako okufiirwa obulamu, ebintu oba okutaataaganyizibwa mu by'emirimu n'eby'enfuna 29 00:02:40,049 --> 00:02:44,109 n'obutonde bw'ensi, nga bireteddwa ekikuuno ekigwa mu kitundu ekimu mu kiseera ekimu. 30 00:02:44,109 --> 00:02:54,870 Akatyabaga kye kigambo ekikozesebwa mu mbeera elimu emikisa emingi egy'okukosebwa okuva ku kikuuno. 31 00:02:54,870 --> 00:02:58,010 Olwo obusobe kye kyi? 32 00:02:58,010 --> 00:03:04,400 Wano obusobe kitegeeza embeera omuntu mwaberera omwangu ennyo okukosebwa mu birowoozo era ne mu mubiri gwe 33 00:03:04,400 --> 00:03:05,529 Oluvannyuma lw'ekibamba. 34 00:03:05,529 --> 00:03:13,540 Bwe tukigaziya tuyinza okugamba nti bwe bungi bw'emikisa eri ekitundu, abantu, n'ebintu 35 00:03:13,540 --> 00:03:20,540 okukosebwa olw'embeera eva mu kikuuno. 36 00:03:22,239 --> 00:03:23,450 Obusobozi kye kyi? 37 00:03:23,450 --> 00:03:35,480 Mumbeera eno kino kitegeeza okubaawo kw'abantu, ebikozesebwa era n'ebikola byonna 38 00:03:35,480 --> 00:03:43,480 ebiyinza okusobozesa abantu b'omukitundu ekimu okwanganga ekikuuno nga tekinnatuuka oba okwanganga ebizibu bye kiba kireseewo. 39 00:03:44,999 --> 00:03:48,099 Olwo nno kakwate kyi akali wakati w'ebigambo bino? 40 00:03:48,099 --> 00:03:58,340 Ekibamba n'akatyabaga: Akatyabaga mu mbeera y'ekibamba kasobola okunnyonnyolwa nga tweyambisa ekibalo kino wammanga. 41 00:03:58,340 --> 00:04:05,340 Akatyabaga kenkanankana n'ekikuuno nga okikubaganyizzaamu obusobe ate n'oyawulako obusobozi. 42 00:04:05,340 --> 00:04:08,189 Ebibamba bisobola okujja olw'obutonde, 43 00:04:08,189 --> 00:04:13,529 naye ate bisobola okuva ku nkola eya tekinologiya oba ebyo ebikolebwa omuntu. 44 00:04:13,529 --> 00:04:19,329 Waliwo ebibamba ebitagwa mu kimu ku bika ebyogeddwaako waggulu, nga ebyo tubiyita bya maleeto. 45 00:04:19,329 --> 00:04:24,420 Engeri endala gyetuyinza okwawula mu bibamba esinziira ku misinde kwe bitambulira. 46 00:04:24,420 --> 00:04:30,789 Ebibamba ebimu bitambula ku misinde gya yiriyiri ate nga ebirala byo bitambula kasoobo. 47 00:04:30,789 --> 00:04:39,780 Mu ebyo ebitambula akasoobo tulinamu ekyeya, eddungu,enjala, okutema ebibira 48 00:04:39,780 --> 00:04:42,780 mpozzi n'obuwuka oba endwadde ezikwata ebimera. 49 00:04:43,879 --> 00:04:51,379 Ebibamba ebya yiriyiri bitwariramu ebyo ebiva ku mbeera y'obudde gamba nga amataba, embuyaga ya zzimu, 50 00:04:51,379 --> 00:05:00,810 omuliro ogwa kyegyira, omuzira oguggwa era n'ebyo ebiva ku nkula y'ensi gamba nga sunami oba ensozi okuwandula omuliro 51 00:05:00,810 --> 00:05:03,990 n'okubumbulukuka kw'ettaka. 52 00:05:03,990 --> 00:05:06,080 Ebibamba ebiva ku tekinologiya bitera kuletebwa 53 00:05:06,080 --> 00:05:16,340 bikolwa bya bantu bennyini oba omukka oguva mu bintu abantu bye bakozesa. 54 00:05:16,340 --> 00:05:22,180 Muno mwetusanga obukuubagano n'entalo ebireeta abantu okubundabundira mu nsi yabwe oba ebweru w'egwanga. 55 00:05:22,180 --> 00:05:25,830 Bino tutera kubiyita kika kya mbeera ya kattu. 56 00:05:25,830 --> 00:05:32,830 Ebibamba bya tekinologiya era bitwaliramu ebizimbe n'amayumba okugwa, 57 00:05:32,830 --> 00:05:40,220 ebibamba ebibaawo mu by'entambula, obubenje bw'oku mazzi n'obw'okulukalu era n'obubenje obulala bwonna. 58 00:05:40,220 --> 00:05:48,060 gamba nga omukka ogw'obutwa oguva mu ddagala oba mu makolero. 59 00:05:49,610 --> 00:05:56,060 mu bibamba bya tekinologiya era mulimu obubenje bw'eby'okwerinda, omuliro,ebibamba ebiva ku butujju, 60 00:05:56,060 --> 00:06:01,860 n'obubenje by'omu makolero 61 00:06:01,860 --> 00:06:03,680 Ebibamba ebya maleeto. 62 00:06:03,680 --> 00:06:09,759 Mu mbeera ezimu kiba kizibu okwawula mu bibamba bino naddala okugamba nti bivudde ku butonde 63 00:06:09,759 --> 00:06:10,879 oba bivudde ku tekinologiya. 64 00:06:10,879 --> 00:06:16,560 Eky'okulabirako, endwadde eza kawumpuli zigwa mu tuluba kyi? 65 00:06:16,560 --> 00:06:20,810 Kakano katutunuulire engeri ebibamba gye bikosaamu eby'obulamu. 66 00:06:20,810 --> 00:06:27,810 Ebibamba bivaako ebizibu bingi nga omwo mwe muli abantu okufa n'okulumizibwa, okubulwa amazzi amayonjo, okufiirwa 67 00:06:27,960 --> 00:06:34,960 okufiirwa webegeka oluba, okufiirwa ebintu byabwe, okubundabunda, okufiira enteekaterka ez'eby'obuyonjo, 68 00:06:34,960 --> 00:06:41,849 nga enteekateeka ez'okuyonja okwa buli lunaku, okutataaganya entambuza ya kazambi oba enkola ez'ebyokwerinda mu ngeri ez'enjawulo, 69 00:06:41,849 --> 00:06:48,849 nga bireeta okutya, olwo obuwuka obuleeta obulwadde ne bweyongera era 70 00:06:49,090 --> 00:06:59,780 negujabagira nga endwadde ez'olukonvuba nazo zinyinyintira, oluusi n'amasanyalaze nga gavuddeko, emmere nga ya kkekwa 71 00:06:59,780 --> 00:07:04,479 ate n'amazzi nago nga gaanjadde. 72 00:07:04,479 --> 00:07:11,479 Kino kye kifannanyi ky'embeera nga wabaddewo ekyeeya n'enjala. 73 00:07:12,689 --> 00:07:19,689 Kino kye kifananyi ky'ebyo ebibaawo nga waliwo amataba agomujjirano. 74 00:07:19,870 --> 00:07:26,340 Kuno kunnyonnyola ku ebyo ebibaawo mu mbeera ey'amataba agajja empolampola. 75 00:07:26,340 --> 00:07:32,400 Kuno kunnyonnyola ku bikyi ebiva mu mbeera ey'ettaka okubumbulukuka. 76 00:07:32,400 --> 00:07:37,629 Enkola eya Hyogo Framework for Disaster Management y'enteekateeka ey'ensi yonna esimbye essira ku 77 00:07:37,629 --> 00:07:45,969 bino wammanga ku mitendera gyonna: okugunjawo enkola eyitibwaamu okuwa okulabula okusooka 78 00:07:45,969 --> 00:07:52,969 okutumbula obusobozi era n'okussa essira ku nkola yonna etumbula obusobozi, okussa essira ku kwerinda n'okutumbula amanyi okulwanyisa embeera nga ezo waggulu 79 00:07:53,259 --> 00:08:01,219 mu bantu b'owansi, okukendeeza ebyo ebibateeka mu katyabaga, n'okwongera amanyi mu bweteefuteefu mu kwanganga ebibamba ku buli 80 00:08:01,219 --> 00:08:04,129 mutendera. 81 00:08:04,129 --> 00:08:11,129 Ebimu ku bigambo ebikwata ku mbeera ekulembera ebibamba mulimu obweteefuteefu, ekitegeeza enteekateeka eyamba abantu 82 00:08:11,189 --> 00:08:17,810 okumanya kyikyi eky'okukola nga ekibamba kigudde. 83 00:08:17,810 --> 00:08:23,800 Okugema ekitegeeza ebikolwa ebireeta obukuumi obwenkomeredde ku bibamba 84 00:08:23,800 --> 00:08:30,800 ebitwaliramu okukozesa ebyuma wamu n'ebintu ebirala ebikwatibwako, era n'okussaawo amateeka agakugira 85 00:08:30,889 --> 00:08:34,270 enkozesa y'ettaka era n'enteekateeka y'ebibuga. 86 00:08:34,270 --> 00:08:41,270 Waliwo okwetangira ekitegeeza enteekateeka ezikolebwa nga ekintu tekinnabaaawo nga zigendererwamu okukendeeza 87 00:08:41,890 --> 00:08:48,650 oba okukugira akabi kekiyinza okutuuusa ku bantu ne ku butonde bw'ensi. 88 00:08:48,650 --> 00:08:52,470 Ebyo ebikolebwa nga ekibamba kimaze okugwawo mulimu okudduukirira. 89 00:08:52,470 --> 00:08:59,470 Kuno kwekusalawo era n'ebyo ebitekebwa mu nkola oluvannyuma lw'ekibamba okugwa, nga mulimu obuyambi obw'embagirawo, 90 00:08:59,470 --> 00:09:05,620 okuddaabiriza era n'okuzimba ebyo ebiba byonooneddwa. 91 00:09:05,620 --> 00:09:07,820 Okuzza obuggya kye kimu ku ebyo ebikolebwa oluvannyuma lw'ekibamba. 92 00:09:07,820 --> 00:09:14,820 Kino kitegeeza ebintu ebikolebwa okuzzaawo ebikola era n'enkola eziwanirila obulamu olwo emirimu gisobole okugenda mu maaso 93 00:09:15,090 --> 00:09:24,890 era n'okusobozesa enteekateeka zonna ez'okuzza embeera mu nteeko mu kiseera ekiddirira ekibamba. 94 00:09:25,530 --> 00:09:30,340 Ebigambo ebirala: Obuyambi era n'obuddukirize 95 00:09:30,340 --> 00:09:35,260 Bino bibeerawo mu kaseera nga ekibamba kyakagwaawo. 96 00:09:35,260 --> 00:09:42,000 Enteekateeka ez'enjawulo zikolebwa okuwonya obulamu era n'okubudaabuda abo abawonyewo ssaako n'okusisinkana 97 00:09:42,000 --> 00:09:43,560 ebyetaago byabwe ebisookerwako. 98 00:09:43,560 --> 00:09:48,480 Waliwo enjawulo wakati w'ebigambo: obuyambi n'obuddukirize 99 00:09:48,480 --> 00:09:58,780 Obuddukirize bugendererwa kuwonya bulamu sso nga ate obuyambi bugendererwa kuwanirira bulamu. 100 00:09:59,330 --> 00:10:07,860 Okubudaabuda kwo kukolebwa nga obuyambi 101 00:10:07,860 --> 00:10:09,330 bulekeddawo okugabibwa, 102 00:10:09,330 --> 00:10:16,330 era nga obuyambi obw'ebyetaago ebisokerwako tebukyetaagisa, 103 00:10:16,740 --> 00:10:20,320 era nga abantu betengeredde mu kusisinkana obwetaavu obw'ebyo ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo. 104 00:10:20,320 --> 00:10:27,310 Okubudaabuda kulimu okuzza obuggya endowooza z'abantu era n'embeera zabwe ez'obulamu, wamu n'okutembenkeza embeera yonna mu kitundu. 105 00:10:27,310 --> 00:10:33,860 Era kulimu okugunjawo enkola ennungamu ez'okuwanirira obulamu n'okuyamba ba kawonawo okugenda mumaaso. 106 00:10:33,860 --> 00:10:39,510 Enkola eno era esaana okuleeta enkulakulana mukitundu. 107 00:10:39,510 --> 00:10:46,910 Ekimu ku by'okulabirako by'okubudaabuda y'enkola ey'okuzzaawo ebibira, 108 00:10:46,910 --> 00:10:49,550 era n'enteekateeka ezikolebwa oluvannyuma lw'okuddabulula. 109 00:10:49,550 --> 00:10:56,550 Ekinyusi kiri mu kuzza embeera mu nteeko nga bweyali nga ekibamba kekinagwa. 110 00:10:58,830 --> 00:11:05,830 Mu kuddabulula mulimu okuddabiriza ebizimbe, enguudo, n'ebiringa ebyo, okusitula omutindo gw'ebintu okuva ku bwebyali nga ekibamba kekinagwa 111 00:11:06,430 --> 00:11:13,000 okutumbula amanyi g'abantu b'omukitundu okwanganga ebibamba, gamba nga okutekawo ebizimbe ebyamanyi ebisobola okugumira 112 00:11:13,000 --> 00:11:16,560 ebibamba ebifananako nga ekyo mu biseera eby'omumaaso. 113 00:11:16,560 --> 00:11:25,560 Enkola eno yonna yandibadde erina engeri gy'esitula omutindo okuva ku kuwa obuwi obudduukirize n'obuyambi,wabula nga esemberera okukendeeza ku mikisa gy'ebibamba okugwa. 114 00:11:26,200 --> 00:11:33,200 Kino kya kusomooza gyoli: Nkola kyi zotaddewo okuziyiza ebibamba mu 115 00:11:33,200 --> 00:11:35,130 disiturikiti yo? 116 00:11:35,130 --> 00:11:39,220 Nkola kyi zotaddewo okuziyiza embeera y'obusobe ku bibamba mu disiturikiti yo? 117 00:11:39,220 --> 00:11:43,880 Era nkola kyi zotaddewo okweteekerateekera ebibamba ssinga biguddewo mu disiturikiti yo? 118 00:11:43,880 --> 00:11:46,410 Manya kino nti ebibamba byonna birina kukwatibwa bukulembeze bwawansi okusooka. 119 00:11:46,410 --> 00:11:50,710 Era ebibamba byonna bikosa ekitundutundu ku bantu b'omu kifo ekimu. 120 00:11:50,710 --> 00:11:56,290 Nolwekyo okudduukirira okusooka bulijjo kuva mu kitundu ekyo mwennyini. 121 00:11:56,290 --> 00:12:03,290 Eno y'ensonga lwaki obusobozi bw'abantu mu kifo okwanganga ebibamba bulina okutumbulwa. 122 00:12:03,750 --> 00:12:06,040 Mwebale kuwuliriza.