0:00:06.399,0:00:13.000 (Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University)[br]Lino lye ssomo erisooka mu kitundu kyaffe ekisooka mu misomo gino. 0:00:13.000,0:00:19.079 Essomo lino lituwa enyanjula ku bibamba.ebigwa tebiraze 0:00:19.079,0:00:28.079 Tugenda kukubaganya ebirowoozo ku nyingo enkulu, amakulu n'ebyo ebikwata ku bibamba ebigwa tebiraze 0:00:29.140,0:00:33.350 era n'ebigambo ebitera okukozesebwa nga twogera ku bibamba ebigwa tebiraze 0:00:33.350,0:00:40.350 Era tugenda kwogera ku bika oba engeri eziri mu bibamba bino era n'engeri embeera z'eby'obulamu gye zikosebwamu. 0:00:40.549,0:00:43.000 ebibamba bino, 0:00:43.000,0:00:48.290 Ekigambo "ekibamba" kikutegeeza kyi? 0:00:48.290,0:00:55.290 Ekibamba kiyinza okunnyonnyolwa nga ekintu ekigwaawo nekitataaganyiza ddala era n'okutabulatabula enkola n'embeera y'obulamu mu bantu ab'omukitundu ekimu. 0:00:55.290,0:01:04.260 oba ebitundu ebiwereko, ekiretera abantu okufiirwa obulamu n'ebintu byabwe era n'ekitundu mwebabeera okutataagana, mungeri esukka 0:01:04.260,0:01:10.540 obusobozi bw'abantu bano n'ebintu bye balina, okwejja mu buzibu. 0:01:10.540,0:01:17.940 Ekikulu mu mbeera eno kwe kuba nti obuzibu buba busukkira ddala nnyo obusobozi bw'abantu ababa bakoseddwa 0:01:17.940,0:01:22.530 era okuyita mu mbeera eno baba beetaga obuyambi obwamanyi. 0:01:22.530,0:01:27.960 Ago nno ge makulu g'ekigambo kibamba agaawebwa ekitongole ky'ensi yonna , ekikola ku by'obulamu, World Health Organization. 0:01:27.960,0:01:29.610 Kati tugenda okunnyonnyola ebigambo ebirala 0:01:29.610,0:01:31.080 Akattu kye kyi? 0:01:31.080,0:01:37.550 Eno yembeera etwetaagisa okulekayo engeri eza bulijjo ze tukolamu ebintu era ne tubangawo enkola ezitali zabulijjo 0:01:37.550,0:01:42.040 okusobola okwewala akabi akava mu kibamba. 0:01:42.040,0:01:47.380 Wabula emirundi mingi ebigambo bino: 'akatttu' ne 'ekibamba' bikozesebwa okutegeeza ekintu kye kimu. 0:01:47.380,0:01:56.060 Naye tulina okummanya kino nti: akattu ye mbeera etwetaagisa okukyuusa mu ngeri gye tubadde tukola mu ebintu 0:01:56.060,0:02:04.770 nga tugunjawo engeri eyenjawulo egendererwamu okuziyiza 0:02:04.770,0:02:08.628 ekibambulira. 0:02:08.628,0:02:13.000 Katulabe ku bigambo ebiri mu kkowe lino. 0:02:13.000,0:02:18.019 Ekikuuno, akatyabaga, obusobe, n'obusobozi. 0:02:18.019,0:02:20.150 Ekikuuno kye kyi? 0:02:20.150,0:02:24.659 Ekikuuno kye kintu ekibi, eky'entiisa ekiyinza okuzaala obizibu obungi eri abantu 0:02:24.659,0:02:31.659 Ekyo nno kiba tekinnaleeta buzibu naye nga kilina obosobozi okuvaamu ekibamba. 0:02:31.659,0:02:34.349 Akatyabaga kye kyi? 0:02:34.349,0:02:40.049 Eyo ye mbeera eyinza okuvaako okufiirwa obulamu, ebintu oba okutaataaganyizibwa mu by'emirimu n'eby'enfuna 0:02:40.049,0:02:44.109 n'obutonde bw'ensi, nga bireteddwa ekikuuno ekigwa mu kitundu ekimu mu kiseera ekimu. 0:02:44.109,0:02:54.870 Akatyabaga kye kigambo ekikozesebwa mu mbeera elimu emikisa emingi egy'okukosebwa okuva ku kikuuno. 0:02:54.870,0:02:58.010 Olwo obusobe kye kyi? 0:02:58.010,0:03:04.400 Wano obusobe kitegeeza embeera omuntu mwaberera omwangu ennyo okukosebwa mu birowoozo era ne mu mubiri gwe 0:03:04.400,0:03:05.529 Oluvannyuma lw'ekibamba. 0:03:05.529,0:03:13.540 Bwe tukigaziya tuyinza okugamba nti bwe bungi bw'emikisa eri ekitundu, abantu, n'ebintu 0:03:13.540,0:03:20.540 okukosebwa olw'embeera eva mu kikuuno. 0:03:22.239,0:03:23.450 Obusobozi kye kyi? 0:03:23.450,0:03:35.480 Mumbeera eno kino kitegeeza okubaawo kw'abantu, ebikozesebwa era n'ebikola byonna 0:03:35.480,0:03:43.480 ebiyinza okusobozesa abantu b'omukitundu ekimu okwanganga ekikuuno nga tekinnatuuka oba okwanganga ebizibu bye kiba kireseewo. 0:03:44.999,0:03:48.099 Olwo nno kakwate kyi akali wakati w'ebigambo bino? 0:03:48.099,0:03:58.340 Ekibamba n'akatyabaga: Akatyabaga mu mbeera y'ekibamba kasobola okunnyonnyolwa nga tweyambisa ekibalo kino wammanga. 0:03:58.340,0:04:05.340 Akatyabaga kenkanankana n'ekikuuno nga okikubaganyizzaamu obusobe ate n'oyawulako obusobozi. 0:04:05.340,0:04:08.189 Ebibamba bisobola okujja olw'obutonde, 0:04:08.189,0:04:13.529 naye ate bisobola okuva ku nkola eya tekinologiya oba ebyo ebikolebwa omuntu. 0:04:13.529,0:04:19.329 Waliwo ebibamba ebitagwa mu kimu ku bika ebyogeddwaako waggulu, nga ebyo tubiyita bya maleeto. 0:04:19.329,0:04:24.420 Engeri endala gyetuyinza okwawula mu bibamba esinziira ku misinde kwe bitambulira. 0:04:24.420,0:04:30.789 Ebibamba ebimu bitambula ku misinde gya yiriyiri ate nga ebirala byo bitambula kasoobo. 0:04:30.789,0:04:39.780 Mu ebyo ebitambula akasoobo tulinamu ekyeya, eddungu,enjala, okutema ebibira 0:04:39.780,0:04:42.780 mpozzi n'obuwuka oba endwadde ezikwata ebimera. 0:04:43.879,0:04:51.379 Ebibamba ebya yiriyiri bitwariramu ebyo ebiva ku mbeera y'obudde gamba nga amataba, embuyaga ya zzimu, 0:04:51.379,0:05:00.810 omuliro ogwa kyegyira, omuzira oguggwa era n'ebyo ebiva ku nkula y'ensi gamba nga sunami oba ensozi okuwandula omuliro 0:05:00.810,0:05:03.990 n'okubumbulukuka kw'ettaka. 0:05:03.990,0:05:06.080 Ebibamba ebiva ku tekinologiya bitera kuletebwa 0:05:06.080,0:05:16.340 bikolwa bya bantu bennyini oba omukka oguva mu bintu abantu bye bakozesa. 0:05:16.340,0:05:22.180 Muno mwetusanga obukuubagano n'entalo ebireeta abantu okubundabundira mu nsi yabwe oba ebweru w'egwanga. 0:05:22.180,0:05:25.830 Bino tutera kubiyita kika kya mbeera ya kattu. 0:05:25.830,0:05:32.830 Ebibamba bya tekinologiya era bitwaliramu ebizimbe n'amayumba okugwa, 0:05:32.830,0:05:40.220 ebibamba ebibaawo mu by'entambula, obubenje bw'oku mazzi n'obw'okulukalu era n'obubenje obulala bwonna. 0:05:40.220,0:05:48.060 gamba nga omukka ogw'obutwa oguva mu ddagala oba mu makolero. 0:05:49.610,0:05:56.060 mu bibamba bya tekinologiya era mulimu obubenje bw'eby'okwerinda, omuliro,ebibamba ebiva ku butujju, 0:05:56.060,0:06:01.860 n'obubenje by'omu makolero 0:06:01.860,0:06:03.680 Ebibamba ebya maleeto. 0:06:03.680,0:06:09.759 Mu mbeera ezimu kiba kizibu okwawula mu bibamba bino naddala okugamba nti bivudde ku butonde 0:06:09.759,0:06:10.879 oba bivudde ku tekinologiya. 0:06:10.879,0:06:16.560 Eky'okulabirako, endwadde eza kawumpuli zigwa mu tuluba kyi? 0:06:16.560,0:06:20.810 Kakano katutunuulire engeri ebibamba gye bikosaamu eby'obulamu. 0:06:20.810,0:06:27.810 Ebibamba bivaako ebizibu bingi nga omwo mwe muli abantu okufa n'okulumizibwa, okubulwa amazzi amayonjo, okufiirwa 0:06:27.960,0:06:34.960 okufiirwa webegeka oluba, okufiirwa ebintu byabwe, okubundabunda, okufiira enteekaterka ez'eby'obuyonjo, 0:06:34.960,0:06:41.849 nga enteekateeka ez'okuyonja okwa buli lunaku, okutataaganya entambuza ya kazambi oba enkola ez'ebyokwerinda mu ngeri ez'enjawulo, 0:06:41.849,0:06:48.849 nga bireeta okutya, olwo obuwuka obuleeta obulwadde ne bweyongera era 0:06:49.090,0:06:59.780 negujabagira nga endwadde ez'olukonvuba nazo zinyinyintira, oluusi n'amasanyalaze nga gavuddeko, emmere nga ya kkekwa 0:06:59.780,0:07:04.479 ate n'amazzi nago nga gaanjadde. 0:07:04.479,0:07:11.479 Kino kye kifannanyi ky'embeera nga wabaddewo ekyeeya n'enjala. 0:07:12.689,0:07:19.689 Kino kye kifananyi ky'ebyo ebibaawo nga waliwo amataba agomujjirano. 0:07:19.870,0:07:26.340 Kuno kunnyonnyola ku ebyo ebibaawo mu mbeera ey'amataba agajja empolampola. 0:07:26.340,0:07:32.400 Kuno kunnyonnyola ku bikyi ebiva mu mbeera ey'ettaka okubumbulukuka. 0:07:32.400,0:07:37.629 Enkola eya Hyogo Framework for Disaster Management y'enteekateeka ey'ensi yonna esimbye essira ku 0:07:37.629,0:07:45.969 bino wammanga ku mitendera gyonna: okugunjawo enkola eyitibwaamu okuwa okulabula okusooka 0:07:45.969,0:07:52.969 okutumbula obusobozi era n'okussa essira ku nkola yonna etumbula obusobozi, okussa essira ku kwerinda n'okutumbula amanyi okulwanyisa embeera nga ezo waggulu 0:07:53.259,0:08:01.219 mu bantu b'owansi, okukendeeza ebyo ebibateeka mu katyabaga, n'okwongera amanyi mu bweteefuteefu mu kwanganga ebibamba ku buli 0:08:01.219,0:08:04.129 mutendera. 0:08:04.129,0:08:11.129 Ebimu ku bigambo ebikwata ku mbeera ekulembera ebibamba mulimu obweteefuteefu, ekitegeeza enteekateeka eyamba abantu 0:08:11.189,0:08:17.810 okumanya kyikyi eky'okukola nga ekibamba kigudde. 0:08:17.810,0:08:23.800 Okugema ekitegeeza ebikolwa ebireeta obukuumi obwenkomeredde ku bibamba 0:08:23.800,0:08:30.800 ebitwaliramu okukozesa ebyuma wamu n'ebintu ebirala ebikwatibwako, era n'okussaawo amateeka agakugira 0:08:30.889,0:08:34.270 enkozesa y'ettaka era n'enteekateeka y'ebibuga. 0:08:34.270,0:08:41.270 Waliwo okwetangira ekitegeeza enteekateeka ezikolebwa nga ekintu tekinnabaaawo nga zigendererwamu okukendeeza 0:08:41.890,0:08:48.650 oba okukugira akabi kekiyinza okutuuusa ku bantu ne ku butonde bw'ensi. 0:08:48.650,0:08:52.470 Ebyo ebikolebwa nga ekibamba kimaze okugwawo mulimu okudduukirira. 0:08:52.470,0:08:59.470 Kuno kwekusalawo era n'ebyo ebitekebwa mu nkola oluvannyuma lw'ekibamba okugwa, nga mulimu obuyambi obw'embagirawo, 0:08:59.470,0:09:05.620 okuddaabiriza era n'okuzimba ebyo ebiba byonooneddwa. 0:09:05.620,0:09:07.820 Okuzza obuggya kye kimu ku ebyo ebikolebwa oluvannyuma lw'ekibamba. 0:09:07.820,0:09:14.820 Kino kitegeeza ebintu ebikolebwa okuzzaawo ebikola era n'enkola eziwanirila obulamu olwo emirimu gisobole okugenda mu maaso 0:09:15.090,0:09:24.890 era n'okusobozesa enteekateeka zonna ez'okuzza embeera mu nteeko mu kiseera ekiddirira ekibamba. 0:09:25.530,0:09:30.340 Ebigambo ebirala: Obuyambi era n'obuddukirize 0:09:30.340,0:09:35.260 Bino bibeerawo mu kaseera nga ekibamba kyakagwaawo. 0:09:35.260,0:09:42.000 Enteekateeka ez'enjawulo zikolebwa okuwonya obulamu era n'okubudaabuda abo abawonyewo ssaako n'okusisinkana 0:09:42.000,0:09:43.560 ebyetaago byabwe ebisookerwako. 0:09:43.560,0:09:48.480 Waliwo enjawulo wakati w'ebigambo: obuyambi n'obuddukirize 0:09:48.480,0:09:58.780 Obuddukirize bugendererwa kuwonya bulamu sso nga ate obuyambi bugendererwa kuwanirira bulamu. 0:09:59.330,0:10:07.860 Okubudaabuda kwo kukolebwa nga obuyambi 0:10:07.860,0:10:09.330 bulekeddawo okugabibwa, 0:10:09.330,0:10:16.330 era nga obuyambi obw'ebyetaago ebisokerwako tebukyetaagisa, 0:10:16.740,0:10:20.320 era nga abantu betengeredde mu kusisinkana obwetaavu obw'ebyo ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo. 0:10:20.320,0:10:27.310 Okubudaabuda kulimu okuzza obuggya endowooza z'abantu era n'embeera zabwe ez'obulamu, wamu n'okutembenkeza embeera yonna mu kitundu. 0:10:27.310,0:10:33.860 Era kulimu okugunjawo enkola ennungamu ez'okuwanirira obulamu n'okuyamba ba kawonawo okugenda mumaaso. 0:10:33.860,0:10:39.510 Enkola eno era esaana okuleeta enkulakulana mukitundu. 0:10:39.510,0:10:46.910 Ekimu ku by'okulabirako by'okubudaabuda y'enkola ey'okuzzaawo ebibira, 0:10:46.910,0:10:49.550 era n'enteekateeka ezikolebwa oluvannyuma lw'okuddabulula. 0:10:49.550,0:10:56.550 Ekinyusi kiri mu kuzza embeera mu nteeko nga bweyali nga ekibamba kekinagwa. 0:10:58.830,0:11:05.830 Mu kuddabulula mulimu okuddabiriza ebizimbe, enguudo, n'ebiringa ebyo, okusitula omutindo gw'ebintu okuva ku bwebyali nga ekibamba kekinagwa 0:11:06.430,0:11:13.000 okutumbula amanyi g'abantu b'omukitundu okwanganga ebibamba, gamba nga okutekawo ebizimbe ebyamanyi ebisobola okugumira 0:11:13.000,0:11:16.560 ebibamba ebifananako nga ekyo mu biseera eby'omumaaso. 0:11:16.560,0:11:25.560 Enkola eno yonna yandibadde erina engeri gy'esitula omutindo okuva ku kuwa obuwi obudduukirize n'obuyambi,wabula nga esemberera okukendeeza ku mikisa gy'ebibamba okugwa. 0:11:26.200,0:11:33.200 Kino kya kusomooza gyoli: Nkola kyi zotaddewo okuziyiza ebibamba mu 0:11:33.200,0:11:35.130 disiturikiti yo? 0:11:35.130,0:11:39.220 Nkola kyi zotaddewo okuziyiza embeera y'obusobe ku bibamba mu disiturikiti yo? 0:11:39.220,0:11:43.880 Era nkola kyi zotaddewo okweteekerateekera ebibamba ssinga biguddewo mu disiturikiti yo? 0:11:43.880,0:11:46.410 Manya kino nti ebibamba byonna birina kukwatibwa bukulembeze bwawansi okusooka. 0:11:46.410,0:11:50.710 Era ebibamba byonna bikosa ekitundutundu ku bantu b'omu kifo ekimu. 0:11:50.710,0:11:56.290 Nolwekyo okudduukirira okusooka bulijjo kuva mu kitundu ekyo mwennyini. 0:11:56.290,0:12:03.290 Eno y'ensonga lwaki obusobozi bw'abantu mu kifo okwanganga ebibamba bulina okutumbulwa. 0:12:03.750,0:12:06.040 Mwebale kuwuliriza.