WEBVTT 00:00:05.470 --> 00:00:09.720 (Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University) OKUTENDEKEBWA MU KWANGANGA EBIBAMBA EBIGWA TEBIRAZE: ENYANJULA 00:00:09.720 --> 00:00:17.240 Ga ssetendekero mu nsi z'Africa ey'ebuvanjuba gakwatidde wamu 00:00:17.240 --> 00:00:24.240 kaweefube mu nteekateeka oy'okwanganga ebibamba bye by'obulamu esuubirwa okutumbula obusobozi 00:00:24.499 --> 00:00:29.949 bwa gavumenti ez'ebitundu mu nsi zino mu kuteekateeka obudduukirize singa ebibamba 00:00:29.949 --> 00:00:33.829 ebiyuuya embeera z'eby'obulamu biba biguddewo. 00:00:33.829 --> 00:00:40.060 Ekindu kya Africa ey'obuvanjuba kiri mu katyabaga k'ebibamba ebigwa tebiraze ebyekuusa ku butonde bw'ensi oba ebiva ku nkola ya tekinologiya 00:00:40.060 --> 00:00:40.980 eby'enjawulo. 00:00:40.980 --> 00:00:46.830 Mu Africa ey'ebuvanjuba temuli nsi nemu etayolekedde, oba etannalozaako ku buzibu 00:00:46.830 --> 00:00:49.080 bwa bibamba bino ebigwa tebiraze. 00:00:50.680 --> 00:00:58.250 Ebisinga ku bibamba bino bikosa buteerevu embeera z'e by'obulamu nga bivaako 00:00:58.250 --> 00:01:04.938 endwadde ezisasaana amangu oba nga bitataaganya enzirukanya y'emirimu 00:01:04.938 --> 00:01:07.770 mu bitongole ebikwatibwako. 00:01:07.770 --> 00:01:14.770 Ekinyusi kya kaweefube ono kwe kutumbula obusosbozi bwa zi disiturikiti okuteekawo enkola esobozesa 00:01:14.770 --> 00:01:21.760 obwangu mu kubudaabuda n'okuyamba ababa bakoseddwa, olwo kikendeeze ku bulumi, 00:01:21.760 --> 00:01:28.700 okunyigirizibwa mu birowoozo n'okufirwa obulamu ebitera okuva mu bibamba nga bino. 00:01:28.700 --> 00:01:33.720 Omulamwa gw'okutendekebwa kuno kye kyi? Omulamwa gw'okutendekebwa kuno kwe kwongera amanyi mu busobozi 00:01:33.720 --> 00:01:40.720 bwa buli disiturikiti mu kuteekateeka obuyambi nokubuddukanya olw'e bibamba ebikosa embeera z'eby'obulamu . 00:01:40.890 --> 00:01:47.740 Ebigendererwa mu kutendekebwa kuno bye bino: Okusasaanya amawulire agakwata ku bibamba ebigwa tebiraze mu by'obulamu 00:01:47.740 --> 00:01:52.810 Okubangawo enkola ku buli disiturikiti ey'okwanganga ebibamba ebitonotono ebitera okugwaawo 00:01:52.810 --> 00:01:58.960 ku disiturikiti, era n'okutumbula obusobozi bw'abakungu ba zi disituriki mu kusomesa abantu be bakulembera mu 00:01:58.960 --> 00:02:03.510 kwanganga ebibamba ebigwa tebiraze 00:02:03.510 --> 00:02:05.869 Kyikyi kyetusuubira okuva mu musomo guno? 00:02:05.869 --> 00:02:12.370 Tusuubira okukola ebbago lya disiturirkiti erifuga era n'okulungamya enkola mu kwanganga ebibamba 00:02:12.370 --> 00:02:13.920 Ekyo tugenda kukikola tutya? 00:02:13.920 --> 00:02:20.349 Olunaku olusooka: Tugenda kukkiriziganya ku kyi kye tuyita ekibamba era n'engeri ebibamba 00:02:20.349 --> 00:02:21.880 gyebikosaamu zi disiturikiti 00:02:21.880 --> 00:02:28.250 Olunaku olw'okubiri:Tugenda kukubaganya ebirowoozo ku bikyi ebitera okuvaako ebibamba ebigwa tebiraze mu Africa ey'ebuvanjuba era ne mu zi disiturikiti zaffe 00:02:28.250 --> 00:02:34.480 Day 3: Tugenda kulaba ku zimu ku nkola era n'emitindo mu buduukirize ebisobola okugobererwa mu kwanganga ebibamba 00:02:34.480 --> 00:02:39.319 Olunaku olw'okuna n'olw'okutaano: Tugenda kukolera mu bubinja obutonotono. Buli kabinja kajja kukola ebbago lya disiturikiti eriyinza okulungamya okwanganga ebibamba ebigwa tebiraze. 00:02:39.319 --> 00:02:45.650 Olunaku olw'omukaaga: Buli kabinja kajja kwanjula ebbago lyako. 00:02:46.650 --> 00:02:47.750 Mwebale nnyo.