1 00:00:05,470 --> 00:00:09,720 (Luganda translation by Eve Nabulya, Makerere University) OKUTENDEKEBWA MU KWANGANGA EBIBAMBA EBIGWA TEBIRAZE: ENYANJULA 2 00:00:09,720 --> 00:00:17,240 Ga ssetendekero mu nsi z'Africa ey'ebuvanjuba gakwatidde wamu 3 00:00:17,240 --> 00:00:24,240 kaweefube mu nteekateeka oy'okwanganga ebibamba bye by'obulamu esuubirwa okutumbula obusobozi 4 00:00:24,499 --> 00:00:29,949 bwa gavumenti ez'ebitundu mu nsi zino mu kuteekateeka obudduukirize singa ebibamba 5 00:00:29,949 --> 00:00:33,829 ebiyuuya embeera z'eby'obulamu biba biguddewo. 6 00:00:33,829 --> 00:00:40,060 Ekindu kya Africa ey'obuvanjuba kiri mu katyabaga k'ebibamba ebigwa tebiraze ebyekuusa ku butonde bw'ensi oba ebiva ku nkola ya tekinologiya 7 00:00:40,060 --> 00:00:40,980 eby'enjawulo. 8 00:00:40,980 --> 00:00:46,830 Mu Africa ey'ebuvanjuba temuli nsi nemu etayolekedde, oba etannalozaako ku buzibu 9 00:00:46,830 --> 00:00:49,080 bwa bibamba bino ebigwa tebiraze. 10 00:00:50,680 --> 00:00:58,250 Ebisinga ku bibamba bino bikosa buteerevu embeera z'e by'obulamu nga bivaako 11 00:00:58,250 --> 00:01:04,938 endwadde ezisasaana amangu oba nga bitataaganya enzirukanya y'emirimu 12 00:01:04,938 --> 00:01:07,770 mu bitongole ebikwatibwako. 13 00:01:07,770 --> 00:01:14,770 Ekinyusi kya kaweefube ono kwe kutumbula obusosbozi bwa zi disiturikiti okuteekawo enkola esobozesa 14 00:01:14,770 --> 00:01:21,760 obwangu mu kubudaabuda n'okuyamba ababa bakoseddwa, olwo kikendeeze ku bulumi, 15 00:01:21,760 --> 00:01:28,700 okunyigirizibwa mu birowoozo n'okufirwa obulamu ebitera okuva mu bibamba nga bino. 16 00:01:28,700 --> 00:01:33,720 Omulamwa gw'okutendekebwa kuno kye kyi? Omulamwa gw'okutendekebwa kuno kwe kwongera amanyi mu busobozi 17 00:01:33,720 --> 00:01:40,720 bwa buli disiturikiti mu kuteekateeka obuyambi nokubuddukanya olw'e bibamba ebikosa embeera z'eby'obulamu . 18 00:01:40,890 --> 00:01:47,740 Ebigendererwa mu kutendekebwa kuno bye bino: Okusasaanya amawulire agakwata ku bibamba ebigwa tebiraze mu by'obulamu 19 00:01:47,740 --> 00:01:52,810 Okubangawo enkola ku buli disiturikiti ey'okwanganga ebibamba ebitonotono ebitera okugwaawo 20 00:01:52,810 --> 00:01:58,960 ku disiturikiti, era n'okutumbula obusobozi bw'abakungu ba zi disituriki mu kusomesa abantu be bakulembera mu 21 00:01:58,960 --> 00:02:03,510 kwanganga ebibamba ebigwa tebiraze 22 00:02:03,510 --> 00:02:05,869 Kyikyi kyetusuubira okuva mu musomo guno? 23 00:02:05,869 --> 00:02:12,370 Tusuubira okukola ebbago lya disiturirkiti erifuga era n'okulungamya enkola mu kwanganga ebibamba 24 00:02:12,370 --> 00:02:13,920 Ekyo tugenda kukikola tutya? 25 00:02:13,920 --> 00:02:20,349 Olunaku olusooka: Tugenda kukkiriziganya ku kyi kye tuyita ekibamba era n'engeri ebibamba 26 00:02:20,349 --> 00:02:21,880 gyebikosaamu zi disiturikiti 27 00:02:21,880 --> 00:02:28,250 Olunaku olw'okubiri:Tugenda kukubaganya ebirowoozo ku bikyi ebitera okuvaako ebibamba ebigwa tebiraze mu Africa ey'ebuvanjuba era ne mu zi disiturikiti zaffe 28 00:02:28,250 --> 00:02:34,480 Day 3: Tugenda kulaba ku zimu ku nkola era n'emitindo mu buduukirize ebisobola okugobererwa mu kwanganga ebibamba 29 00:02:34,480 --> 00:02:39,319 Olunaku olw'okuna n'olw'okutaano: Tugenda kukolera mu bubinja obutonotono. Buli kabinja kajja kukola ebbago lya disiturikiti eriyinza okulungamya okwanganga ebibamba ebigwa tebiraze. 30 00:02:39,319 --> 00:02:45,650 Olunaku olw'omukaaga: Buli kabinja kajja kwanjula ebbago lyako. 31 00:02:46,650 --> 00:02:47,750 Mwebale nnyo.